Zabbuli 119:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Balina omukisa abo abagondera ebiragiro bye,
era abanoonya Mukama n’omutima gwabwe gwonna.
Okuva 20:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Olunaku lwa Ssabbiiti lujjukirenga era olutukuzenga.
Okuva 20:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 naye olunaku olw’omusanvu ye Ssabbiiti ya Mukama Katonda wo. Ku lunaku olwo tokolerangako mulimu gwonna; ggwe, wadde mutabani wo, wadde muwala wo, wadde omuweereza wo omusajja, oba omuweereza wo omukazi, wadde ensolo zo, wadde omugenyi ali omumwo.
Isaaya 58:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)“Bw’oneekuumanga obutayonoona Ssabbiiti,
obutakola nga bw’oyagala ku lunaku lwange olutukuvu,
bw’onooluyitanga olw’essanyu
era olunaku lwa Mukama olw’ekitiibwa,
singa muluwa ekitiibwa ne mutakwata makubo gammwe
oba obutakola nga bwe mwagala oba okwogera ebigambo eby’okubalaata,
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.