Yokaana 17:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Mbawadde ekigambo kyo, ensi n’ebakyawa kubanga si ba nsi nga Nze bwe siri wa nsi.
Read full chapter
Yokaana 17:26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)Era mbayigirizza ne bamanya erinnya lyo, era nzija kwongera okubamanyisa okwagala kwo kw’onjagala, kulyoke kubeerenga mu bo, era nange mbeere mu bo.”
Read full chapter
Yokaana 16:27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
27 (A)Kitange abaagala nnyo kubanga nammwe munjagala nnyo era mukkiriza nti nava eri Katonda.
Read full chapter
Yokaana 16:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 Ebyo balibibakola kubanga Kitange tebaamumanya, era nange tebammanyi.
Read full chapter
Yokaana 16:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 Ne beeyongera okwebuuza nti, “Kiki ekyo ky’agamba nti, ‘Ebbanga ttono?’ Tetutegeera ky’agamba.”
Read full chapter
Yokaana 16:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)Omukazi ng’azaala aba mu bulumi buyitirivu, kubanga ekiseera kye kituuse. Naye omwana bw’amala okuzaalibwa olwo omukazi aba takyajjukira bulumi buli olw’essanyu ery’okuzaala omuntu mu nsi.
Read full chapter
Yokaana 16:23
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
23 (A)Mu kiseera ekyo nga temukyansaba kintu na kimu, mmwe bennyini munaasabanga Kitange mu linnya lyange.
Read full chapter
Yokaana 16:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Ebyo mbibabuulidde mu ngero. Naye ekiseera kijja kutuuka nneme kwogera nammwe mu ngero, wabula mbabuulire lwatu ebifa ku Kitange.
Read full chapter
Yokaana 3:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Kubanga Katonda teyatuma Mwana we mu nsi kugisalira musango, wabula ensi erokolebwe okuyita mu ye.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.