Yokaana 15:4-7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)mubeere mu Nze era nange mbeere mu mmwe. Ng’ettabi bwe litayinza kubala bibala ku bwalyo nga teriri ku muzabbibu, bwe mutyo nammwe temuyinza kubala bibala bwe mutabeera mu Nze.
5 (B)“Nze muzabbibu, mmwe matabi. Buli abeera mu Nze nange ne mbeera mu ye oyo abala ebibala bingi. Kubanga awatali Nze temuliiko kye muyinza kukola. 6 (C)Omuntu bw’atabeera mu nze asuulibwa ebweru ng’ettabi erikaze. Amatabi ng’ago bagakuŋŋaanya ne bagasuula ku muliro ne gaggya. 7 (D)Naye bwe munywerera mu Nze ne munyweza ebigambo byange, buli kye munaasabanga kinaabakolerwanga.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.