Yobu 9:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Ye mukozi wa Nabaliyo, entungalugoye ne Kakaaga,
n’ebibinja eby’emunyeenye eby’obukiikaddyo.
Isaaya 42:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Era ndikulembera abantu bange abazibe ba maaso mu kkubo lye batamanyi
n’abayise mbaluŋŋamize mu makubo ge batamanyidde.
Ndifuula ekizikiza okuba omusana mu maaso gaabwe
n’ebifo ebizibu okuyitamu ndibirongoosa.
Ebyo by’ebintu bye ndikola,
sirireka bantu bange.
Zabbuli 104:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Oleeta ekizikiza, ne buba ekiro;
olwo ebisolo byonna eby’omu bibira ne biryoka bivaayo.
Amosi 8:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Mukama Katonda agamba nti,
“Ku lunaku olwo, enjuba erigwiira mu ttuntu
era ensi erikwata ekizikiza emisana ttuku.
Zabbuli 104:6-9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Wagibikkako obuziba ng’ekyambalo;
amazzi ne gatumbiira okuyisa ensozi ennene.
7 (B)Bwe wagaboggolera ne gadduka;
bwe gaawulira okubwatuka kwo ne gaddukira ddala;
8 (C)gaakulukutira ku nsozi ennene,
ne gakkirira wansi mu biwonvu
mu bifo bye wagategekera.
9 Wagassizaawo ensalo ze gatasaana kusukka,
na kuddayo kubuutikira nsi.
Amosi 4:13
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Kubanga laba, oyo eyatonda ensozi
era ye yatonda n’embuyaga
era abikkulira omuntu ebirowoozo bye.
Yafuula enkya okubeera ekiro,
era alinnya mu bifo ebigulumivu eby’ensi.
Mukama Katonda ow’Eggye lye linnya lye.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.