Yobu 35
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
35 Eriku n’ayongera okwogera nti,
2 “Olowooza kiba kituufu ggwe okugamba nti, Katonda ananziggyako omusango.
Oyogera nti, obutuukirivu bwange businga obwa Katonda.
3 (A)Ate obuuza nti, ‘Nganyulwa ntya?’
Kirungi ki kye nfuna mu kwonoona kwange?
4 “Nandyagadde okukuddamu
ne mikwano gyo egyo gy’oli nagyo.
5 (B)Tunula eri eggulu olabe;
tunuulira ebire, ebiri waggulu ennyo okukusinga.
6 (C)Singa oyonoona ekyo kimukwatako kitya?
Ebyonoono byo bwe byeyongera, ekyo kimukolako ki?
7 (D)Bw’oba omutuukirivu, kiki ky’oba omuwadde,
oba kiki ky’aba afunye okuva mu ngalo zo?
8 Okwonoona kwo kukosa muntu nga ggwe,
era n’obutuukirivu bwo bukwata ku baana b’abantu.
9 (E)Abantu bakaaba olw’okunyigirizibwa okw’amaanyi,
balaajaanira ab’omukono ogw’amaanyi.
10 (F)Naye tewali n’omu agamba nti, Aluwa Mukama Omutonzi wange
atuwa ennyimba ekiro,
11 (G)atuyigiriza ebingi okusinga ensolo ez’omu nsiko,
era n’atufuula bagezi okusinga ebinyonyi eby’omu nsiko?
12 (H)Newaakubadde nga bakaaba, tayinza kuwulira
n’addamu kukaaba kw’abasajja ab’amalala abakozi b’ebibi.
13 (I)Ddala ddala Katonda tawuliriza kukoowoola kwabwe okwo okutaliimu;
Ayinzabyonna takufaako.
14 (J)Kale kiba kitya
bw’ogamba nti tomulaba,
era nti, Omusango gwo guli mu maaso ge
era oteekwa okumulindirira;
15 oba nti, ne bw’asunguwala tabonereza
era tafaayo nnyo ku butali butuukirivu.
16 (K)Kale nno Yobu ayasamya akamwa ke okwogera ebitaliimu;
obutamanya bumwogeza ebigambo olukunkumuli.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.