Yeremiya 27:9-10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Noolwekyo bannabbi bammwe, n’abalaguzi, n’abavvuunuzi b’ebirooto, temubawuliriza wadde abalogo wadde abafumu ababagamba nti, ‘Temulibeera baddu ba kabaka w’e Babulooni.’ 10 (B)Baabawa bunnabbi bwa bulimba obunaabaleetera okutwalibwa ewala okuva mu mawanga gammwe. Ndibagobera wala era mulizikirira.
Read full chapter
Yeremiya 27:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Towuliriza bigambo bya bannabbi abakugamba nti, ‘Tolibeera muddu wa kabaka w’e Babulooni,’ kubanga bakutegeeza bya bulimba.
Read full chapter
Matayo 7:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Omuti n’Ebibala
15 (A)“Mwekuume abayigiriza ab’obulimba, abajja nga bambadde amaliba g’endiga, songa munda gy’emisege egigenda okubataagulataagula.
Read full chapter
Yeremiya 14:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Awo Mukama n’alyoka aŋŋamba nti, “Bannabbi bawa obunnabbi obw’obulimba mu linnya lyange, sibatumanga wadde okubalagira okwogera nabo. Babategeeza okwolesebwa okw’obulimba n’obunnabbi obutaliimu, n’obutaliimu bw’emitima gyabwe.
Read full chapter
Yeremiya 9:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Kaakano mmwe abakazi, muwulirize ekigambo kya Katonda,
era mutege okutu kwammwe kuwulire ekigambo ky’akamwa ke.
Muyigirize bawala bammwe okukaaba,
era buli muntu ayigirize munne okukungubaga.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.