Yeremiya 22:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)‘Naye bwe mutaagondere biragiro bino, nneelayirira ku lwange nti olubiri luno lulifuuka matongo,’ bw’ayogera Mukama.”
Read full chapter
Yeremiya 7:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Noolwekyo bw’atyo bw’ayogera Mukama nti, “Laba obusungu bwange n’ekiruyi kyange bijja kufukibwa ku kifo kino, ku bantu ne ku nsolo, ku miti egy’omu ttale era ne ku bibala eby’omu ttaka; bujja kubuubuuka era tebujja kukoma.”
Read full chapter
2 Bassekabaka 25:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)N’ayokya yeekaalu ya Mukama, n’olubiri lwa kabaka, n’ennyumba zonna na buli kizimbe ekikulu era nga kya muwendo mu Yerusaalemi.
Read full chapter
Amosi 2:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Ndiweereza omuliro ku Yuda
ne njokya ebigo bya Yerusaalemi.”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.