Oluyimba 4:16-5:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Omwagalwa
16 (A)Zuukuka gwe empewo ey’obukiikakkono,
naawe empewo ey’obukiikaddyo jjangu.[a]
Mukuntire ku nnimiro yange,
akaloosa, kaayo akalungi kasaasaane wonna,
Muleke muganzi wange ajje mu nnimiro ye,
alye ebibala byamu eby’omuwendo.
Owoomukwano
5 (B)Nzize mu nnimiro yange mwannyinaze, omugole wange;
nkuŋŋaanyiza mooli yange n’eby’akawoowo byange.
Ndidde ebisenge byange eby’omubisi gw’enjuki gwange ne nywa n’omubisi gwange,
Nywedde wayini wange n’amata gange.
Abemikwano
Abemikwano mulye munywe, munywere ddala, mmwe abaagalana.
Omwagalwa
2 (C)Nnali ngalamidde, ng’omutima gwange guwulira.
Ne mpulira muganzi wange ng’akonkona, n’ayogera nti,
“Nziguliraawo mwannyinaze, Owoomukwano, ejjiba lyange,
owe wange ataliiko bbala,
kubanga omutwe gwange gutobye omusulo,
n’enviiri zange zibisiwadde olw’obunnyogovu.”
3 Nziggyeko ekkooti yange,
nnaagyambala ntya nate?
Nanaabye ebigere,
nnaddayo ntya mu ttaka gye binaddugalira?
4 Muganzi wange bwe yakwata ku munyolo,
omutima gwange ne gubuukabuuka.
5 (D)Ne ngolokoka okuggulirawo muganzi wange,
emikono gyange nga gitonnya mooli,
n’engalo zange nga zikulukuta mooli,
ku minyolo gy’ekufulu.
6 (E)Ne ŋŋenda okuggulirawo muganzi wange,
naye muganzi wange ng’avuddewo,
yeetambulidde.
Omutima gwange gwasanyuka bwe nnawulira eddoboozi lye.
Ne munoonya naye n’ambula, ne mukoowoola naye nga taddamu.
7 (F)Abakuumi baansanga
bwe baali nga balawuna mu kibuga;
baankuba, ne bandeetako ebinuubule,
ne batwala n’ekyambalo kyange,
abasajja abo abakuuma bbugwe.
8 (G)Mmwe abawala ba Yerusaalemi,
mbakuutira nti bwe mulaba ku muganzi wange,
mumutegeeze ng’okwagala kwange
gy’ali bwe kunzita.
Footnotes
- 4:16 Empewo ey’obukiikakkono ereeta obunnyogovu era ereka ebibala biramu bulungi. Empewo ey’obukiikaddyo ereeta kibuguumirize, era eyengeza ebibala. Empewo ez’engeri zombi zireeta akawoowo akalungi mu nnimiro
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.