Add parallel Print Page Options

(A)N’aŋŋamba nti, “Bituukiridde, Nze Alufa era nze Omega, Entandikwa era Enkomerero. Buli alumwa ennyonta ndimuwa okunywa ku nsulo ez’amazzi amalamu, ag’obuwa. Buli awangula alifuna ebyo byonna ng’omugabo, era nze nnaaberanga Katonda we, naye anaabanga mwana wange. (B)Naye abo ababi n’abatakkiriza n’abagwagwa, n’abassi, n’abenzi, n’abalogo n’abasinza ebifaananyi, n’abalimba bonna, omugabo gwabwe kuliba kuzikirizibwa mu nnyanja ey’omuliro ogwaka ne salufa. Okwo kwe kufa okwokubiri.”

Read full chapter