Add parallel Print Page Options

(A)Weesibe ekitala kyo, Ayi ggwe ow’amaanyi,
    yambala ekitiibwa kyo n’obukulu bwo!
(B)Weebagale embalaasi yo mu kitiibwa kyo eky’obuwanguzi,
    ng’olwanirira amazima, obuwombeefu, n’obutuukirivu.
    Omukono gwo ogwa ddyo gukole ebyewuunyisa.
Obusaale bwo obwogi bufumite emitima gy’abalabe ba kabaka;
    afuge amawanga.
(C)Entebe yo ey’obwakabaka, Ayi Katonda, ya lubeerera;
    n’omuggo ogw’obwenkanya gwe guliba ogw’obwakabaka bwo.

Read full chapter