Add parallel Print Page Options

(A)Ngalamira ne neebaka, era ne nzuukuka bulungi,
    kubanga Mukama ye ampanirira.
(B)Siityenga enkumi n’enkumi z’abalabe bange
    abanneetoolodde, okunnumba.

(C)Golokoka, Ayi Mukama,
    ondokole Ayi Katonda wange
okube abalabe bange bonna
    omenye oluba lw’abakola ebibi.

(D)Obulokozi buva gy’oli, Ayi Mukama.
    Emikisa gyo gibeerenga ku bantu bo.

Read full chapter