Add parallel Print Page Options

(A)Ndi kimuli kya looza ekya Saloni,[a]
    eddanga ery’omu biwonvu.

Owoomukwano

Ng’eddanga mu maggwa,
    gwe njagala ennyo bw’ali bw’atyo mu baweereza abakazi.

Omwagalwa

(B)Ng’omucungwa mu miti egy’omu kibira,
    aŋŋanza bw’ali bw’atyo mu bavubuka.
Neesiima okutuula mu kisiikirize kye,
    n’ekibala kye kimpomera.
(C)Yantwala ku kijjulo,
    n’okwagala kwe ne ku mmaamira.
(D)Munzizeemu amaanyi n’ezabbibu enkalu,
    mumbuddeebudde n’emicungwa
    kubanga okwagala kunzirisizza.
(E)Omukono gwe ogwa kkono guli wansi wa mutwe gwange,
    n’omukono gwe ogwa ddyo gumpambatira.
(F)Mmwe abawala ba Yerusaalemi, mbakuutira,
    ng’empeewo n’enjaza ez’omu ttale,
temusisimula newaakubadde okuzuukusa okwagala
    okutuusa nga kweyagalidde.

(G)Wuliriza omwagalwa wange,
    Laba, ajja
ng’abuukirabuukira ku nsozi,
    ng’azinira ku busozi.
(H)Omwagalwa wange ali ng’empeewo oba ennangaazi ento.
    Laba ayimiridde emabega w’olukomera lwaffe,
Alingiza mu madirisa,
    alabikira mu mulimu ogulukibwa ogw’omu ddirisa.
10 Omwagalwa wange yaŋŋamba nti,
    “Golokoka, Owoomukwano,
    omulungi wange, ojje tugende,
11 kubanga laba ttoggo aweddeko,
    n’enkuba eweddeyo.
12 Ebimuli bimulisizza,
    n’ebiro eby’okuyimba bituuse,
era n’okukaaba kw’amayiba
    kuwulirwa mu nsi.
13 (I)Omutiini[b] gubala ettiini zaagwo,
    n’emizabbibu gimulisizza ne gibunya akawoowo kaagyo.
Golokoka Owoomukwano,
    omulungi wange ojje tugende.”

Owoomukwano

14 (J)Ggwe ejjiba lyange, eribeera mu njatika ez’omu njazi,
    mu bwekwekero obw’amayinja,
ndaga amaaso go,
    ka mpulire eddoboozi lyo,
kubanga eddoboozi lyo ddungi nnyo,
    n’amaaso go gasanyusa.
15 (K)Tukwatire ebibe,
    obube obutono,
obwonoona ennimiro ez’emizabbibu,
    kubanga ennimiro zaffe ez’emizabbibu zimulisizza.

Omwagalwa

16 (L)Muganzi wange, wange nzekka, era nange ndi wuwe;
    aliisiza ekisibo kye mu malanga,
17 (M)okutuusa obudde nga bukedde
    n’ebisiikirize nga biddukidde ddala;
okyuke omwagalwa wange obe ng’empeewo
    oba ennangaazi ento ku busozi obw’e Beseri.

Footnotes

  1. 2:1 Ekimuli kya Looza ekya Saloni kimera ekisangibwa mu nsenyi z’omu bukiikaddyo bwa Kalumeeri.
  2. 2:13 Emitiini mu Isirayiri gibala emirundi ebiri mu mwaka. Amakungula agasinga galingawo mu biseera ebya ttoggo

A Country Girl in a Palace

I am the rose of Sharon,
And the lily of the valleys.

The Beloved

Like a lily among thorns,
So is my love among the daughters.

The Shulamite

Like an apple tree among the trees of the woods,
So is my beloved among the sons.
I sat down in his shade with great delight,
And (A)his fruit was sweet to my taste.

The Shulamite to the Daughters of Jerusalem

He brought me to the [a]banqueting house,
And his banner over me was love.
Sustain me with cakes of raisins,
Refresh me with apples,
For I am lovesick.

(B)His left hand is under my head,
And his right hand embraces me.
(C)I [b]charge you, O daughters of Jerusalem,
By the gazelles or by the does of the field,
Do not stir up nor awaken love
Until it pleases.

The Beloved’s Request

The Shulamite

The voice of my beloved!
Behold, he comes
Leaping upon the mountains,
Skipping upon the hills.
(D)My beloved is like a gazelle or a young stag.
Behold, he stands behind our wall;
He is looking through the windows,
Gazing through the lattice.

10 My beloved spoke, and said to me:
“Rise up, my love, my fair one,
And come away.
11 For lo, the winter is past,
The rain is over and gone.
12 The flowers appear on the earth;
The time of singing has come,
And the voice of the turtledove
Is heard in our land.
13 The fig tree puts forth her green figs,
And the vines with the tender grapes
Give a good smell.
Rise up, my love, my fair one,
And come away!

14 “O my (E)dove, in the clefts of the rock,
In the secret places of the cliff,
Let me see your [c]face,
(F)Let me hear your voice;
For your voice is sweet,
And your face is lovely.”

Her Brothers

15 Catch us (G)the foxes,
The little foxes that spoil the vines,
For our vines have tender grapes.

The Shulamite

16 (H)My beloved is mine, and I am his.
He feeds his flock among the lilies.

(To Her Beloved)

17 (I)Until the day breaks
And the shadows flee away,
Turn, my beloved,
And be (J)like a gazelle
Or a young stag
Upon the mountains of [d]Bether.

Footnotes

  1. Song of Solomon 2:4 Lit. house of wine
  2. Song of Solomon 2:7 adjure
  3. Song of Solomon 2:14 Lit. appearance
  4. Song of Solomon 2:17 Lit. Separation