Olubereberye 4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Kayini ne Aberi
4 Adamu n’amanya Kaawa, mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Kayini n’agamba nti, “Mukama annyambye nzadde omuntu.” 2 (A)Oluvannyuma n’azaala muganda we Aberi.
Aberi n’aba mulunzi, ye Kayini n’abeera mulimi. 3 (B)Awo ennaku bwe zaayitawo Kayini n’alyoka aleeta ebibala by’ebimera ebyava mu ttaka okubiwaayo eri Mukama. 4 (C)Aberi naye n’aleeta ku baana b’endiga ze ababereberye n’amasavu gaazo. Mukama n’asiima Aberi n’ekiweebwayo kye. 5 Naye teyasiima Kayini wadde ekiweebwayo kye. Awo Kayini n’asunguwala nnyo, n’endabika y’amaaso ge n’ewaanyisibwa.
6 Mukama n’abuuza Kayini nti, “Osunguwalidde ki? Era n’endabika y’amaaso go lwaki ewaanyisiddwa? 7 (D)Bw’onookolanga obulungi tokkirizibwenga? Naye bw’otokole bulungi ekibi, kiri kumpi naawe, nga kikulindiridde, naye oteekwa okukiwangula.”
Kayini atta Aberi
8 (E)Kayini n’agamba Aberi muganda we nti, “Tulageko mu nnimiro.” Bwe baali nga bali mu nnimiro Kayini n’agolokokera ku muganda we Aberi, n’amutta.
9 Awo Mukama n’abuuza Kayini nti, “Muganda wo Aberi ali ludda wa?”
N’amuddamu nti, “Ssimanyi; nze mukuumi wa muganda wange?”
10 (F)Mukama n’amugamba nti, “Okoze ki? Eddoboozi ly’omusaayi gwa muganda wo oguyiyiddwa ku ttaka linkaabirira. 11 Ne kaakano okolimiddwa, era ettaka lyasamye okumira omusaayi gwa muganda wo gwe wasse. 12 Bw’onoolimanga ettaka teriikuwenga bibala byalyo; onoobanga momboze ku nsi.”
13 Kayini n’agamba Mukama nti, “Ekibonerezo kyange kinzitooweredde sikisobola. 14 (G)Laba, ongobye okuva ku nsi ne mu maaso go; era nnaabanga momboze ne buli anandaba ananzita.”
15 (H)Awo Mukama n’amugamba nti, “Nedda si bwe kiri. Buli alitta Kayini ndimuwalana emirundi musanvu.” 16 (I)Kayini n’alyoka ava mu maaso ga Mukama, n’abeera mu nsi ya Enodi ku luuyi olw’ebuvanjuba olwa Adeni.
Abaana ba Kayini
17 (J)Kayini n’amanya mukazi we, n’aba olubuto n’azaala Enoka. Kayini n’azimba ekibuga n’akituuma erinnya lyerimu erya mutabani we Enoka. 18 Enoka n’azaalirwa Iradi ne Iradi n’azaala Mekujeeri, ne Mekujeeri n’azaala Mesuseera, ne Mesuseera n’azaala Lameka.
19 Lameka n’awasa abakazi babiri: omu yali Ada n’omulala nga ye Zira. 20 Ada n’azaala Yabali. Ono ye yali kitaawe w’abo ababeera mu weema nga balunda. 21 Muganda we Yubali, ye yazaala abo abakuba ennanga n’okufuuwa omulere. 22 Zira n’azaala Tubalukayini omuweesi w’eby’ekikomo n’eby’ekyuma. Ne mwannyina wa Tubalukayini nga ye Naama.
23 (K)Lameka n’agamba bakazi be nti,
“Ada ne Zira, muwulire eddoboozi lyange;
mwe bakazi ba Lameka, muwulirize kye ŋŋamba;
nzise omusajja olw’okunfumita,
nga muvubuka, olw’okunkuba.
24 (L)Obanga Kayini yawalanirwa emirundi musanvu,
mazima Lameka wa kuwalanirwa emirundi nsanvu mu musanvu.”
Okuzaalibwa kwa Seezi
25 (M)Awo Adamu n’amanya mukazi we, n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Seezi, kubanga yayogera nti, “Katonda ampadde omwana omulala mu kifo kya Aberi, Kayini gwe yatta.” 26 (N)Seezi n’azaala omwana owoobulenzi n’amutuuma Enosi.
Mu kiseera ekyo abantu ne batandika okukoowoola erinnya lya Mukama.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.