Olubereberye 35
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Katonda Azza Obuggya Endagaano ne Yakobo
35 (A)Katonda n’agamba Yakobo nti, “Golokoka oyambuke e Beseri, obeere eyo, ozimbire Katonda ekyoto, eyakulabikira bwe wadduka muganda wo Esawu.”
2 (B)Awo Yakobo n’agamba ab’omu nnyumba ye ne bonna abaali naye nti, “Muggyeewo bakatonda abalala abali nammwe, mwetukuze mukyuse ebyambalo byammwe, 3 (C)tulyoke twambuke tugende e Beseri ndyoke nzimbire Katonda ekyoto, Katonda eyanziramu mu nnaku ez’okunakuwala kwange, era abadde nange buli gye ŋŋenze. 4 (D)Awo ne bawa Yakobo bakatonda abalala bonna be baalina, n’empeta ezaali ku matu gaabwe;[a] Yakobo n’abiziika wansi w’omuvule ogwali okumpi ne Sekemu.” 5 (E)Bwe baali batambula, entiisa ya Katonda n’egwa ku bibuga ebyali bibeetoolodde, ne batagoberera baana ba Yakobo.
6 (F)Yakobo n’ajja e Luzi, ye Beseri, ekiri mu nsi ya Kanani, ye n’abantu bonna abaali naye. 7 (G)N’azimba eyo ekyoto, n’akituuma Erubeeseeri. Kubanga eyo Katonda gye yamweragira bwe yadduka muganda we.
8 (H)Debola omujjanjabi wa Lebbeeka n’afa n’aziikibwa wansi w’omuvule, wansi wa Beseri kyekyava kiyitibwa Alooninakusi. 9 (I)Yakobo bwe yava mu Padanalaamu Katonda n’amulabikira, n’amuwa omukisa. 10 (J)Katonda n’amugamba nti, “Erinnya lyo ggwe Yakobo; tokyaddayo kuyitibwa Yakobo, erinnya lyo linaabanga Isirayiri.” Bwe kityo erinnya lye ne liba Isirayiri. 11 (K)Katonda n’amugamba nti, “Ndi Katonda Ayinzabyonna: zaala oyale, eggwanga n’enkuyanja y’amawanga biriva mu ggwe, ne bakabaka balisibuka mu ggwe. 12 (L)Ensi gye nawa Ibulayimu ne Isaaka, ndigikuwa ggwe, era ndigiwa n’ezzadde lyo eririddawo.” 13 (M)Awo Katonda n’alinnya okuva waali mu kifo we yayogerera naye.
14 (N)Yakobo n’asimba empagi mu kifo Katonda mwe yayogerera naye, empagi ey’ejjinja; n’agiyiwako ekiweebwayo ekyokunywa, n’ayiwako n’amafuta. 15 (O)Yakobo ekifo Katonda we yayogerera naye n’akiyita Beseri.
16 Bwe baava e Beseri, era nga bakyali walako okuva Efulasi, Laakeeri n’alumwa, n’alumwa ddala nnyo. 17 (P)Bwe yali ng’alumwa bw’atyo omuzaalisa n’amugamba nti, “Totya kubanga kaakano onoofuna omwana omulala owoobulenzi.” 18 Omwoyo bwe gwali gumuggwaamu ng’afa, n’amutuuma Benoni, naye kitaawe n’amuyita Benyamini.
19 (Q)Awo Laakeeri n’afa n’aziikibwa ku kkubo erigenda Efulasi (ye Besirekemu). 20 (R)Yakobo n’asimba empagi ku malaalo ge, y’empagi y’amalaalo ga Laakeeri, ekyaliwo n’okutuusa kaakano.
21 Isirayiri ne yeeyongera okutambula, n’akuba eweema ye, emabega w’omunaala gwa Ederi. 22 (S)Isirayiri bwe yali ng’ali mu nsi omwo Lewubeeni n’agenda ne yeebaka ne Biira omuweereza wa kitaawe, Isirayiri n’akiwulira.
Batabani ba Yakobo baali kkumi n’ababiri.
23 (T)Batabani ba Leeya baali:
Lewubeeni mutabani wa Yakobo omubereberye,
ne Simyoni, ne Leevi, ne Yuda, ne Isakaali ne Zebbulooni.
24 (U)Batabani ba Laakeeri ye:
Yusufu ne Benyamini.
25 (V)Batabani ba Biira, omuweereza wa Laakeeri be ba:
Ddaani ne Nafutaali.
26 (W)Batabani ba Zirupa omuweereza wa Leeya be ba:
Gaadi ne Aseri.
Bano be batabani ba Yakobo abaamuzaalirwa mu Padanalaamu.
Okufa kwa Isaaka
27 (X)Awo Yakobo n’ajja eri kitaawe Isaaka e Mamule, oba Kiriyasaluba, ye Kebbulooni, Ibulayimu ne Isaaka mwe baatuulanga. 28 (Y)Isaaka yawangaala emyaka kikumi mu kinaana. 29 (Z)Isaaka n’afa ng’akaddiye nnyo n’agenda abantu be gye bagenda, ng’amaze ennaku nnyingi, batabani be Esawu ne Yakobo ne bamuziika.
Footnotes
- 35:4 Empeta ez’oku matu zaakozesebwanga ng’ensiriba.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.