Olubereberye 30:20
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
20 (A)Leeya kwe kugamba nti, “Katonda ampadde ekirabo, kaakano baze anaabanga nange, kubanga muzaalidde abaana aboobulenzi mukaaga.” Ow’omukaaga kyeyava amutuuma Zebbulooni.
Read full chapter
1 Samwiri 1:2-4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Yalina abakyala babiri, omu nga ye Kaana; n’omulala nga ye Penina. Penina yalina abaana, naye Kaana nga mugumba.
3 (B)Buli mwaka omusajja oyo yayambukanga okuva mu kibuga ky’ewaabwe okugenda okusinza n’okuwaayo ssaddaaka eri Mukama ow’Eggye e Siiro[a]. Eyo Kofuni ne Finekaasi batabani ba Eri gye baawererezanga nga bakabona ba Mukama Katonda. 4 (C)Awo olunaku olw’okuwaayo ssaddaaka bwe lwatuuka, Erukaana, n’awa Penina ne batabani be, ne bawala be emigabo egy’ennyama.
Read full chapterFootnotes
- 1:3 Siiro Essanduuko ya Mukama ne Weema ey’Okukuŋŋaanirangamu (3:3; Yos 18:1) byali olugendo lwa kilomita amakumi asatu mu bukiikakkono bwa Yerusaalemi. Era kyali kigwanidde Abayisirayiri bonna okulagangayo okusinzizaayo emirundi esatu buli mwaka (Ma 16:16-17; Kuv 23:14-19)
Olubereberye 49:5-7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Simyoni ne Leevi baaluganda,
ebitala byabwe byakulwanyisa bya maanyi.
6 (B)Ayi omwoyo gwange teweetaba mu kuteesa kwabwe.
Ayi omwoyo gwange teweegatta nabo.
Kubanga mu busungu bwabwe batta abantu,
olw’okwekulumbaza kwabwe baatema ente olunywa.
7 (C)Obusungu bwabwe bukolimirwe, kubanga bungi;
n’obukambwe bwabwe, kubanga bwa ttima.
Ndibaawula mu Yakobo,
ndibasaasaanya mu Isirayiri.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.