Olubereberye 19:37
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
37 (A)Omuwala omukulu n’azaala omwana wabulenzi n’amutuuma Mowaabu, ye jjajja w’Abamowaabu abaliwo kaakano.
Read full chapter
Okubala 22:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Katonda Agaana Balamu Okugenda eri Balaki
22 (A)Awo abaana ba Isirayiri ne basitula, ne batambula ne basiisira mu lusenyi lwa Mowaabu ku mugga Yoludaani okwolekera Yeriko.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 1:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 Ku ludda lw’eyo olw’ebuvanjuba olw’omugga Yoludaani, mu nsi ya Mowaabu, Musa n’atandika okulangirira amateeka gano ng’ayogera nti:
Read full chapter
Luusi 1:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Nawomi ne Luusi
1 (A)Awo olwatuuka mu nnaku ezo abalamuzi ze baafugiramu, enjala n’egwa mu nsi. Awo omusajja ow’e Besirekemu mu Yuda ne mukazi we, ne batabani be bombi, ne basengukira mu nsi ya Mowaabu.
Read full chapter
Luusi 1:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Bwe yawulira ng’ali mu nsi ya Mowaabu nti Mukama Katonda yajjira abantu be n’abawa emmere, n’agolokoka ne baka baana be okuddayo mu Isirayiri.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.