Olubereberye 17:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Eno y’endagaano yange naawe n’ezzadde lyo eririddawo, gy’onookuumanga: Buli musajja mu mmwe anaakomolebwanga.
Read full chapter
Olubereberye 17:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Munaakomolebwanga ekikuta eky’omubiri gwammwe, ekyo kibeere akabonero ak’endagaano yange naawe.
Read full chapter
Abaruumi 4:16-17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Noolwekyo ekisuubizo kijja lwa kukkiriza, kiryoke kiweebwe lwa kisa, eri ezzadde lyonna, so si ezzadde erigondera amateeka lyokka naye n’eri ezzadde erya Ibulayimu olw’okukkiriza; era oyo ye jjajjaffe ffenna. 17 (B)Kyawandiikibwa nti, “Nkufudde jjajja w’amawanga amangi.” Ye jjajjaffe mu maaso g’oyo gwe yakkiriza, Katonda azuukiza abafu, era alaba ebitaliiwo ng’ebiriwo, era atonda ebintu ebiggya.
Read full chapter
Lukka 19:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Yesu n’amugamba nti, “Olwa leero obulokozi buzze mu nnyumba muno, kubanga omusajja ono naye muzzukulu wa Ibulayimu.
Read full chapter
Abaruumi 3:22
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
22 (A)Obutuukirivu bwa Katonda butuweebwa olw’okukkiriza Yesu Kristo. Katonda tasosola.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.