Okuva 40
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okusimba Eweema ya Mukama
40 Awo Mukama n’agamba Musa nti, 2 (A)“Ku lunaku olw’olubereberye olw’omwezi ogw’olubereberye kw’olisimbira Eweema ya Mukama, eweema ey’Okukuŋŋaanirangamu. 3 (B)Essanduuko ey’Endagaano oligiyingiza mu Weema; Essanduuko n’olyoka ogisiikiriza n’eggigi. 4 (C)Oliyingiza emmeeza, n’otegeka bulungi byonna ebigikolerwako. Oliyingiza ekikondo ky’ettaala era n’otegekako ettaala zaakwo n’ozikoleeza. 5 (D)Era oliteeka ekyoto ekya zaabu eky’okwoterezangako obubaane mu maaso g’Essanduuko ey’Endagaano, n’ossaawo olutimbe mu mulyango gw’Eweema ya Mukama.
6 “Ekyoto eky’ekiweebwayo ekyokebwa olikissa mu maaso g’omulyango ogwa Weema ya Mukama, weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, 7 (E)olyoke oteeke ebbensani wakati wa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ekyoto, mu bbensani oteekemu amazzi. 8 Olikola oluggya okwebungulula Weema ya Mukama, n’ossaawo olutimbe mu mulyango oguyingira mu luggya.
9 (F)“Oliddira amafuta ag’okwawula n’ogamansa ku Weema ya Mukama ne byonna ebigirimu, olyoke oyawule Eweema ya Mukama n’ebigirimu byonna, ebeere ntukuvu. 10 (G)Olimansira amafuta ku kyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa n’ebikozesebwako byonna, n’oyawula ekyoto, bwe kityo ekyoto kiribeera kitukuvu nnyo. 11 Era n’ebbensani oligimansirako amafuta, ne kw’etuula, n’ogyawula, n’ogitukuza.
12 (H)“Olireeta Alooni ne batabani be ku mulyango gw’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’obanaaza n’amazzi, 13 (I)n’oyambaza Alooni ebyambalo ebitukuvu n’omusiigako amafuta n’omwawula, alyoke ampeereze nga kabona. 14 Olireeta ne batabani be n’obambaza ekkanzu ey’obwakabona, 15 (J)n’obasiigako amafuta, nga bwe wasiize ku kitaabwe, balyoke bampeereze nga bakabona: era okusiigibwako amafuta okwo kulibafuula bakabona ebbanga lyonna mu mirembe gyabwe.” 16 Musa bw’atyo n’akola ebyo byonna nga Mukama bwe yamulagira.
17 (K)Awo ku lunaku olusooka mu mwezi ogw’olubereberye, mu mwaka ogwokubiri, Eweema ya Mukama n’esimbibwa. 18 Musa n’asimba Eweema ya Mukama; n’ateekateeka ebya wansi mw’etuula, n’ategeka olukangaga lwayo, n’asimba empagi zaayo; 19 n’assaako ekibikka ku Weema ya Mukama, nga Mukama bwe yamulagira.
20 (L)N’addira Endagaano, ey’ebipande eby’amayinja okwasalibwa Amateeka Ekkumi, n’agiteeka munda mu Ssanduuko ey’Endagaano, n’assa emisituliro ku Ssanduuko ey’Endagaano, n’assaako kungulu ekisaanikira, ye ntebe ey’okusaasira; 21 (M)n’ayingiza Essanduuko ey’Endagaano munda mu Weema ya Mukama, n’atimbawo eggigi, n’asiikiriza Essanduuko ey’Endagaano, nga Mukama bwe yalagira Musa.
22 (N)N’ayingiza emmeeza mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’agiteeka ku ludda olw’Obukiikakkono olwa Weema ya Mukama, wabweru w’eggigi, 23 (O)n’assaako emigaati ng’agitegese bulungi awali Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa. 24 (P)N’assa ekikondo ky’ettaala mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu ku ludda olw’Obukiikaddyo obw’Eweema ya Mukama, okwolekera emmeeza, 25 (Q)n’ategeka ettaala awali Mukama, nga Mukama bwe yalagira Musa.
26 (R)N’ayingiza ekyoto ekya zaabu mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu mu maaso g’eggigi, 27 (S)n’ayokerako obubaane obwa kawoowo, nga Mukama bwe yalagira Musa. 28 (T)N’ateeka olutimbe olw’omu mulyango gw’Eweema ya Mukama mu kifo kyalwo.
29 (U)N’ateeka ekyoto eky’ebiweebwayo ebyokebwa ku mulyango gw’Eweema ya Mukama, weema ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’aweerayo okwo ekiweebwayo ekyokebwa eky’obuwunga, nga Mukama bwe yalagira Musa. 30 (V)N’atereeza ebbensani wakati wa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ekyoto, n’assaamu amazzi ag’okunaaba; 31 Musa ne Alooni ne batabani ba Alooni mwe baanaabiranga engalo zaabwe n’ebigere byabwe. 32 (W)Buli lwe baayingiranga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, ne buli lwe baasembereranga ekyoto nga banaaba, nga Mukama bwe yalagira Musa.
33 (X)N’akola oluggya okwebungulula Weema ya Mukama n’ekyoto, n’assaawo olutimbe mu mulyango oguyingira mu luggya. Bw’atyo Musa omulimu n’agumaliriza.
Ekitiibwa kya Mukama
34 (Y)Awo ekire ne kibuutikira Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, yonna n’ejjula ekitiibwa kya Mukama. 35 (Z)Musa n’atasobola kuyingira mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, kubanga ekire kyagibuutikira, n’ekitiibwa kya Mukama ne kijijjula.
36 (AA)Mu lugendo lwabwe lwonna, ekire bwe kyaggyibwanga ku Weema ya Mukama, olwo abaana ba Isirayiri nga basitula nga batambula; 37 naye ekire bwe kitaggyibwangako ku Weema ya Mukama, olwo nga tebasitula kutambula okutuusa ku lunaku lwe kyaggyibwangako. 38 (AB)Ekire kya Mukama kyabeeranga ku Weema ya Mukama emisana, ate ekiro nga mu kire ekyo mubaamu muliro, ng’abaana ba Isirayiri bonna ebyo babiraba mu lugendo lwabwe lwonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.