Okuva 22:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)“Bannamawanga temubayisanga bubi, so temubanyigirizanga, kubanga nammwe mwali bannaggwanga mu nsi y’e Misiri.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 24:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Bw’onookungulanga ebibala mu nnimiro yo ne weerabirayo ekinywa mu nnimiro, toddangayo kukikima. Onookirekeranga omunnaggwanga oba omwana omufuuzi oba nnamwandu; bw’atyo Mukama alyoke akuwenga omukisa mu byonna by’onookolanga.
Read full chapter
Ekyamateeka Olwokubiri 10:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Bamulekwa abataliiko bakitaabwe, ne bannamwandu, abamalira ensonga zaabwe mu bwenkanya; era ayagala ne bannamawanga abatambuze, ng’abawa emmere n’ebyokwambala.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.