Okuva 17:8-16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Olutalo Abayisirayiri lwe Baasooka Okulwana
8 (A)Awo Abamaleki[a] ne bajja balwane ne Isirayiri mu Lefidimu. 9 (B)Musa n’agamba Yoswa nti, “Tuyunguliremu abasajja bagende balwanyise Abamaleki. Enkya nzija kuyimirira ku ntikko y’olusozi nga nkutte omuggo gwa Katonda mu mukono gwange.”
10 (C)Yoswa n’akola nga Musa bwe yamulagira, n’alwana n’Abamaleki. Musa ne Alooni ne Kuli ne bambuka ku ntikko y’olusozi. 11 (D)Musa bwe yawanikanga emikono gye, Abayisirayiri nga bagoba, naye bwe yagissanga, nga Abamaleki bagoba. 12 Emikono gya Musa ne gitandika okumufuuyirira. Alooni ne Kuli ne bamuleetera ejjinja, n’atuula okwo; ne bawanirira emikono gye, omu ng’ali ku ludda olumu, ne munne ku ludda olulala, emikono gye olwo ne ginywerera waggulu okutuusa enjuba lwe yagwa. 13 Yoswa n’awangula Abamaleki ng’akozesa obwogi bw’ekitala.
14 (E)Awo Mukama n’agamba Musa nti, “Kino kiwandiike mu kitabo kiryoke kijjukirwenga ennaku zonna, era Yoswa asaana akimanye, kubanga Abamaleki ŋŋenda kubasangulirawo ddala ku nsi.”
15 Musa n’azimbawo ekyoto n’akituuma erinnya Mukama ye Bendera Yange. 16 N’agamba nti, “Kubanga Mukama alayidde okulwanyisa Abamaleki emirembe gyonna.”
Read full chapterFootnotes
- 17:8 Abamaleki baali bazzukulu ba mukoddomi wa Esawu, eyawasa muwala wa Esawu, era baanyaganga bunyazi batambuze mu ddungu.
Eseza 3:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Awo mu mwezi ogw’olubereberye ogwa Nisani, mu mwaka ogw’ekkumi n’ebiri ogwa kabaka Akaswero, ne bakuba Puli, ke kalulu, mu maaso ga Kamani okufuna olunaku n’omwezi, era omwezi ogw’ekkumi n’ebiri ogwa Adali ne gulondebwa.
Read full chapter
Ebyabaleevi 16:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 Embuzi ebbiri Alooni anaazikubirangako obululu; akalulu akamu nga ka kugwa ku mbuzi ya Mukama, n’akalala nga ka kugwa ku mbuzi enessibwangako omusango.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.