Okubikkulirwa 4:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Ne mu maaso g’entebe eyo waaliwo ekiri ng’ennyanja ey’endabirwamu, ekifaanana nga kulusitalo. Waaliwo ebiramu bina ebijjudde amaaso mu bwenyi n’emabega waabyo nga biri wakati w’entebe ey’obwakabaka n’okugyetooloola.
Read full chapter
Okubikkulirwa 4:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)Ekisooka ku biramu bino kyali ng’empologoma, ekyokubiri nga kifaanana ng’ennyana, n’ekyokusatu kyalina amaaso ng’ag’omuntu, n’ekyokuna kyali ng’empungu, ebuuka.
Read full chapter
Okubikkulirwa 9:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 (A)Zaagambibwa obutakola ku muddo kabi konna, newaakubadde ebimera, wadde emiti; wabula zirumbe abantu abo abataalina kabonero ka Katonda mu byenyi byabwe.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.