Okubikkulirwa 1:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Nnali mu mwoyo ku lunaku lwa Mukama waffe,[a] ne mpulira eddoboozi ery’omwanguka emabega wange, eryavuga ng’ery’akagombe,
Read full chapterFootnotes
- 1:10 Olunaku lwa Mukama waffe: kye kikozesebwa okutegeeza olunaku olusooka olwa wiiki, era lujjukirwa nga lwe lunaku Yesu lwe yazuukirirako mu bafu. Lwe lunaku Abakristaayo kwe baakuŋŋaaniranga ne basolooza ebirabo
Isaaya 6:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Katonda Atuma Isaaya
6 (A)Awo mu mwaka kabaka Uzziya mwe yafiira, nalaba Mukama ng’atudde ku ntebe empanvu ng’agulumizibbwa, n’ekirenge ky’ekyambalo kye nga kijjula yeekaalu.
Read full chapter
Ezeekyeri 1:26-28
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
26 (A)Waggulu w’ekifo ekigazi waggulu w’emitwe gyabyo waaliwo ekyafaanananga entebe ey’obwakabaka, eya safiro, ate waggulu w’ekifaananyi eky’entebe ey’obwakabaka nga watuddeyo eyafaanana ng’omuntu. 27 (B)Ekyo nakirabira ku kyafaanana ng’ekiwato kye, okwambuka ng’afaanana ng’ekyuma ekyengeredde, nga kiriko omuliro mungi; n’okuva mu kiwato kye okukka ng’afaanana omuliro, nga yeetooloddwa okumasamasa enjuuyi zonna. 28 (C)Ekitiibwa ekyamwetooloolanga kyafaanana nga musoke mu bire ku lunaku olw’enkuba. Ekyo kye kyali ekifaananyi eky’ekitiibwa kya Mukama.
Bwe nakiraba, ne nvuunama, ne mpulira eddoboozi ly’oyo eyali ayogera.
Read full chapter
Danyeri 7:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)“Era nga nkyali awo ne ndaba,
“entebe ez’obwakabaka nga ziteekeddwawo,
n’Owedda n’Edda n’atuula ku ntebe ye ey’obwakabaka.
Ebyambalo bye byali byeru ng’omuzira,
n’enviiri ez’oku mutwe gwe nga njeru ng’ebyoya by’endiga.
Entebe ye ey’obwakabaka yali eyakaayakana ng’ennimi z’omuliro,
ne namuziga zaayo nga zaaka omuliro.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.