Okubala 22:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)Naye Balamu n’addamu abo Balaki be yatuma nti, “Balaki ne bw’alimpa enju ye ng’ejjudde ffeeza ne zaabu sigenda kukola kinene oba kitono nga kisukka ku kiragiro kya Mukama Katonda wange.
Read full chapter
Okubala 22:37
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
37 Balaki n’agamba Balamu nti, “Saakutumira nga nkuyita ojje ku bwange? Lwaki tewajja gye ndi? Olowooza siyinza kukuwa bitiibwa bingi?”
Read full chapter
Okubala 22:38
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
38 (A)Balamu n’addamu nti, “Nzuuno kaakano nzize gy’oli! Naye olowooza nnina obuyinza okwogera kyonna kye njagala? Nteekwa okwogera ebyo byokka Katonda by’anassa mu kamwa kange.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.