Matayo 7:24-27
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Omuzimbi Omugezi n’atali Mugezi
24 (A)“Noolwekyo buli awulira ebigambo byange, n’abikola, alifaananyizibwa ng’omusajja ow’amagezi eyazimba enju ye ku lwazi. 25 Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba enju eyo naye n’etegwa kubanga yazimbibwa ku lwazi. 26 Naye buli awulira ebigambo byange n’atabikola, alifaananyizibwa ng’omusajja omusirusiru eyazimba ennyumba ye mu musenyu. 27 Enkuba n’etonnya, emigga ne gikulukuta, omuyaga ne gujja, ne bikuba ennyumba eyo, n’egwa, n’okugwa kwayo ne kuba kunene.”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.