Matayo 6:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 Noolwekyo mumusabenga bwe muti nti,
Kitaffe ali mu ggulu,
Erinnya Lyo litukuzibwe.
Ekyamateeka Olwokubiri 4:39
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
39 (A)“Noolwekyo osaana okitegeerere ddala okuva ku lunaku lwa leero, era okinywereze ddala mu mutima gwo nti Mukama ye Katonda yekka ali waggulu mu ggulu ne wansi ku nsi; so tewali mulala.
Read full chapter
1 Ebyomumirembe 29:11-12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Obukulu, n’amaanyi, n’ekitiibwa, n’obuwanguzi,
n’okugulumizibwa bibyo, Ayi Mukama Katonda,
kubanga byonna ebiri mu ggulu ne mu nsi bibyo.
Obwakabaka bubwo, Ayi Mukama Katonda,
era ogulumizibwa okuba omukulu wa byonna.
12 (B)Obugagga n’ekitiibwa biva gy’oli,
era ggwe ofuga ebintu byonna;
omukono gwo gwa maanyi era gwa buyinza
era gugulumiza ne guwa amaanyi bonna.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.