Mark 9
Holman Christian Standard Bible
9 Then He said to them, “I assure you:(A) There are some standing here who will not taste death(B) until they see the kingdom of God come in power.”(C)
The Transfiguration
2 After(D) six days(E) Jesus took Peter, James, and John(F) and led them up on a high mountain(G) by themselves to be alone. He was transformed[a](H) in front of them, 3 and His clothes(I) became dazzling—extremely white(J) as no launderer on earth could whiten(K) them. 4 Elijah(L) appeared to them with Moses,(M) and they were talking with Jesus.
5 Then Peter said to Jesus, “Rabbi,(N) it’s good(O) for us to be here! Let us make three tabernacles:(P) one for You, one for Moses, and one for Elijah”— 6 because he did not know what he should say,(Q) since they were terrified.(R)
7 A cloud(S) appeared, overshadowing(T) them, and a voice(U) came from the cloud:(V)
8 Then suddenly, looking around, they no longer saw anyone with them except Jesus alone.
9 As(Z) they were coming down from the mountain,(AA) He ordered them to tell no one what they had seen(AB) until the Son of Man(AC) had risen(AD) from the dead.(AE) 10 They kept this word(AF) to themselves, discussing what “rising from the dead” meant.
11 Then they began to question Him, “Why do the scribes(AG) say that Elijah must come first?”(AH)
12 “Elijah does come first and restores(AI) everything,”(AJ) He replied. “How then is it written(AK) about the Son of Man that He must suffer(AL) many things and be treated with contempt?(AM) 13 But I tell you that Elijah really has come, and they did whatever they pleased to him, just as it is written(AN) about him.”
The Power of Faith over a Demon
14 When(AO) they came to the disciples, they saw a large crowd around them and scribes disputing(AP) with them. 15 All of a sudden, when the whole crowd saw Him, they were amazed[b] and ran to greet Him. 16 Then He asked them, “What are you arguing with them about?”
17 Out of the crowd, one man answered Him, “Teacher,(AQ) I brought my son to You. He has a spirit(AR) that makes him unable to speak.(AS) 18 Wherever it seizes him, it throws him down, and he foams at the mouth, grinds his teeth, and becomes rigid. So I asked Your disciples to drive it out, but they couldn’t.”
19 He replied to them, “You unbelieving(AT) generation! How long will I be with you? How long must I put up with you? Bring him to Me.” 20 So they brought him to Him. When the spirit saw Him, it immediately convulsed the boy. He fell to the ground and rolled around, foaming at the mouth. 21 “How long has this been happening to him?” Jesus asked his father.
“From childhood,” he said. 22 “And many times it has thrown him into fire or water to destroy(AU) him. But if You can do anything, have compassion(AV) on us and help us.”
23 Then Jesus said to him, “‘If You can’?[c][d] Everything is possible(AW) to the one who believes.”(AX)
24 Immediately the father of the boy cried out, “I do believe! Help my unbelief.”
25 When Jesus saw that a crowd was rapidly coming together, He rebuked(AY) the unclean(AZ) spirit, saying to it, “You mute and deaf(BA) spirit,[e] I command you: come out of him and never enter him again!”
26 Then it came out, shrieking and convulsing(BB) him[f] violently. The boy became like a corpse, so that many said, “He’s dead.” 27 But Jesus, taking him by the hand, raised him,(BC) and he stood up.
28 After He went into a house, His disciples asked Him privately, “Why couldn’t we drive it out?”
29 And He told them, “This kind can come out by nothing but prayer(BD) [and fasting].”[g](BE)
The Second Prediction of His Death
30 Then(BF) they left that place and made their way through Galilee, but He did not want anyone to know it.(BG) 31 For He was teaching(BH) His disciples and telling them, “The Son of Man(BI) is being betrayed[h] into the hands of men. They will kill Him, and after He is killed, He will rise(BJ) three days later.”(BK) 32 But they did not understand this statement, and they were afraid to ask Him.(BL)
Who is the Greatest?
33 Then(BM) they came to Capernaum.(BN) When He was in the house,(BO) He asked them, “What were you arguing about on the way?”(BP) 34 But they were silent,(BQ) because on the way they had been arguing with one another about who was the greatest.(BR) 35 Sitting down, He called the Twelve(BS) and said to them, “If anyone wants to be first, he must be last of all and servant of all.”(BT) 36 Then He took a child,(BU) had him stand among them, and taking him in His arms, He said to them, 37 “Whoever welcomes[i] one little child such as this in My name(BV) welcomes Me. And whoever welcomes Me does not welcome Me, but Him who sent(BW) Me.”(BX)
In His Name
38 John(BY) said to Him, “Teacher,(BZ) we saw someone[j] driving out demons(CA) in Your name,(CB) and we tried to stop him because he wasn’t following us.”(CC)
39 “Don’t stop him,” said Jesus, “because there is no one who will perform a miracle(CD) in My name who can soon afterward speak evil of Me. 40 For whoever is not against us is for us.(CE) 41 And whoever gives you a cup of water to drink(CF) because of My name,[k] since you belong to the Messiah(CG)—I assure you:(CH) He will never lose his reward.(CI)
Warnings from Jesus
42 “But whoever causes the downfall of one of these little ones who believe in Me(CJ)—it would be better for him if a heavy millstone[l](CK) were hung around his neck and he were thrown into the sea. 43 And if your hand causes your downfall, cut it off.(CL) It is better for you to enter life maimed(CM) than to have two hands and go to hell—the unquenchable fire,(CN) [44 where
45 And if your foot causes your downfall,(CP) cut it off. It is better for you to enter life lame(CQ) than to have two feet and be thrown into hell— [the unquenchable fire,(CR) 46 where
47 And if your eye causes your downfall, gouge it out. It is better for you to enter the kingdom of God(CT) with one eye than to have two eyes and be thrown(CU) into hell,(CV) 48 where
Their worm does not die,
and the fire is not quenched.[q]
49 For everyone will be salted with fire.[r](CW)[s] 50 Salt is good, but if the salt should lose its flavor, how can you make it salty?(CX) Have salt(CY) among yourselves and be at peace(CZ) with one another.”
Footnotes
- Mark 9:2 Or transfigured
- Mark 9:15 Or surprised
- Mark 9:23 Other mss add believe
- Mark 9:23 Jesus appears to quote the father’s words in v. 22 and then comment on them.
- Mark 9:25 A spirit that caused the boy to be deaf and unable to speak
- Mark 9:26 Other mss omit him
- Mark 9:29 Other mss omit bracketed text
- Mark 9:31 Or handed over
- Mark 9:37 Or Whoever receives
- Mark 9:38 Other mss add who didn’t go along with us
- Mark 9:41 Lit drink in the name
- Mark 9:42 A millstone turned by a donkey
- Mark 9:44 Other mss omit bracketed text
- Mark 9:44 Is 66:24
- Mark 9:46 Other mss omit bracketed text
- Mark 9:46 Is 66:24
- Mark 9:48 Is 66:24
- Mark 9:49 Other mss add and every sacrifice will be salted with salt
- Mark 9:49 Lv 2:13; Ezk 43:24
Makko 9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okufuusibwa kwa Yesu
9 (A)Awo Yesu n’abagamba nti, “Ddala ddala mbagamba nti, Abamu ku bantu abali wano tebalifa okuggyako nga bamaze okulaba obwakabaka bwa Katonda nga bujja n’amaanyi.”
2 (B)Bwe waayitawo ennaku mukaaga Yesu n’atwala Peetero ne Yakobo ne Yokaana n’abakulembera ne bagenda ku ntikko y’olusozi oluwanvu ne babeera eyo bokka. Amangwago n’afuusibwa nga balaba, 3 (C)ebyambalo bye ne byeruka nnyo, nga tewali muntu ku nsi asobola kubyoza kubituusa awo! 4 Awo Eriya ne Musa ne babalabikira ne batandika okwogera ne Yesu!
5 (D)Peetero n’agamba Yesu nti, “Labbi, kirungi tubeere wano, tubazimbire ensiisira ssatu, emu nga yiyo, n’endala nga ya Musa, n’endala nga ya Eriya.” 6 Yayogera atyo olw’okutya okungi okwabajjira.
7 (E)Awo ne walabika ekire, ne kibasaanikira ne muvaamu eddoboozi ne ligamba nti, “Ono ye Mwana wange omwagalwa. Mumuwulirirenga.”
8 Amangwago okugenda okukyusa amaaso gaabwe nga tewali muntu mulala okuggyako Yesu eyaliwo yekka nabo.
9 (F)Bwe baali baserengeta olusozi, Yesu n’abakuutira ekyo kye balabye obutakyogerangako okutuusa ng’Omwana w’Omuntu amaze okuzuukira mu bafu. 10 Bwe batyo nabo ne bakikuuma nga kya kyama, naye ne beebuuzaganya ku by’okufa n’okuzuukira kwe.
11 Awo ne bamubuuza nti, “Lwaki abannyonnyozi b’amateeka bagamba nti Eriya asaanira asooke okujja.”
12 (G)Yesu n’abagamba nti, “Weewaawo Eriya y’ateekwa okusooka okujja alongoose ebintu byonna. Lwaki kyawandiikibwa ku Mwana w’Omuntu nti ateekwa okubonaabona ennyo n’okunyoomebwa? 13 (H)Naye mbagamba nti, Ddala ddala Eriya yajja! Naye yayisibwa bubi nnyo, nga bwe baayagala, nga bwe kyawandiikibwa ku ye.”
Yesu Awonya Omulenzi Eyaliko Dayimooni
14 Yesu n’abayigirizwa bali abasatu bwe bakka eri bannaabwe okuva ku lusozi, ne basanga ekibiina kinene nga kyetoolodde bannaabwe, abannyonnyozi b’amateeka nga bawakana nabo. 15 Amangwago ekibiina kyonna bwe kyamulaba, ne badduka ne bagenda gy’ali ne bamwaniriza.
16 Yesu n’ababuuza nti, “Kiki kye muwakana nabo?” 17 Omu ku basajja abaali mu kibiina ne yeesowolayo n’agamba nti, “Omuyigiriza, naleese wano omwana wange omuwonye. Tayinza kwogera aliko omwoyo omubi. 18 Era buli lwe gumulumba gumusuula wansi, n’abimba ejjovu ku mimwa n’aluma amannyo, olwo yenna n’akakanyala. Nsabye abayigirizwa bo bagumugobeko, naye ne balemwa.”
19 Yesu n’agamba nti, “Mmwe, omulembe ogutakkiriza ndituusa ddi okubeera nammwe? Mbagumiikirize kutuusa ddi? Mumundeetere wano.”
20 (I)Ne bamumuleetera. Omwoyo bwe gwamulaba ne gusikambula omulenzi, ne gumusuula wansi, nga bwe yeevulungula nga bw’abimba n’ejjovu ku mimwa.
21 Yesu n’abuuza kitaawe w’omwana nti, “Kino kimaze bbanga ki?” Kitaawe n’addamu nti, “Okuviira ddala mu buto. 22 Oluusi gumusuula mu muliro oluusi mu mazzi nga gwagala okumutta. Obanga olina ky’osobola okutukolera, tusaasire.”
23 (J)Yesu n’amuddamu nti, “Obanga osobola! Buli kimu kisoboka eri oyo akkiriza.”
24 Amangwago Kitaawe w’omwana n’ayogerera waggulu nti, “Nzikiriza, naye nnyamba okukkiriza kwange kweyogereko!”
25 (K)Yesu bwe yalaba ng’ekibiina kyeyongera obunene, n’aboggolera dayimooni nti, “Ggwe omwoyo omubi ogutayogera era omuggavu gw’amatu nkulagira muveeko, era tomuddiranga.”
26 Awo omwoyo ne guwowoggana nnyo, ne gumusikambula nnyo, ne gumuvaako n’aba ng’afudde, bangi ne balowooza nti afudde. 27 Naye Yesu n’amukwata ku mukono n’amuyimiriza.
28 (L)Awo Yesu bwe yayingira mu nnyumba abayigirizwa be, ne bamubuuza mu kyama nti, “Lwaki ffe tetwasobodde kumugoba?”
29 N’addamu nti, “Ogw’engeri eno teguyinza kugenda awatali kusaba.”[a]
30 Bwe baava mu bitundu ebyo ne bayita mu Ggaliraaya. Yesu yali tayagala muntu yenna kumanya. 31 (M)Kubanga yali ayigiriza abayigirizwa ng’abagamba nti, “Omwana w’Omuntu, ajja kuliibwamu olukwe era ajja kuweebwayo mu mikono gy’abantu abalimutta era nga wayise ennaku ssatu alizuukira.” 32 (N)Wabula tebaategeera bye yayogera ate ne batya okumubuuza.
33 (O)Awo ne batuuka e Kaperunawumu. Bwe baali mu nnyumba, n’ababuuza nti, “Mubadde muwakana ku ki mu kkubo?” 34 (P)Naye ne basirika kubanga mu kkubo baawakanira asinga ekitiibwa mu bo!
35 (Q)Awo bwe yatuula n’ayita ekkumi n’ababiri, n’abagamba nti, “Omuntu yenna bw’ayagala okuba oweekitiibwa okusinga banne, asaana yeetoowaze era abe omuweereza w’abalala.” 36 (R)N’addira omwana omuto n’amussa wakati waabwe, n’amusitula mu mikono gye n’abagamba nti, 37 (S)“Buli asembeza omwana omuto ng’ono mu linnya lyange, aba asembezezza nze. N’oyo asembeza nze aba tasembezezza nze nzekka, wabula aba asembezezza n’oyo eyantuma.”
38 (T)Yokaana n’amugamba nti, “Omuyigiriza, twalaba omuntu ng’agoba baddayimooni mu linnya lyo, ne tumuziyiza kubanga tayita naffe.”
39 Naye Yesu n’amuddamu nti, “Temumuziyizanga, kubanga tewali muntu n’omu akola ebikolwa eby’amaanyi mu linnya lyange ate amangwago n’anjogerako bibi. 40 (U)Kubanga buli atatuvuganya aba akolera wamu naffe. 41 (V)Buli abawa eggiraasi y’amazzi okunywako mu linnya lyange kubanga muli bantu ba Kristo, ddala ddala mbagamba nti talirema kuweebwa mpeera.”
Okwesittaza Abato
42 (W)“Na buli alyesittaza omu ku bato bano abanzikiriza, ekyandisinze, kwe kumusiba ejjinja ery’olubengo olunene, n’asuulibwa mu nnyanja. 43 (X)Obanga omukono gwo gukwesittaza, gutemeko! Kisinga okuyingira mu bulamu ng’ogongobadde okusinga okuba n’emikono ebiri n’olaga mu ggeyeena, 44 mu muliro ogutazikira. 45 (Y)Era obanga ekigere kyo kikwesittaza, kitemeko; okuba omulema n’oyingira mu bulamu kisinga okuba n’ebigere ebibiri n’osuulibwa mu ggeyeena 46 envunyu gye zitafa mu muliro ogutazikira. 47 (Z)Era obanga eriiso lyo likwesittaza, liggyeemu! Kisinga okuyingira mu bwakabaka bwa Katonda ng’oli wa liiso limu okusinga okubeera n’amaaso go gombi, 48 (AA)n’osuulibwa mu ggeyeena,
“envunyu gye zitafa
n’omuliro gye gutazikira.
49 (AB)Buli muntu aliyisibwa mu muliro, ng’emmere bwerungibwamu omunnyo.”
50 (AC)“Omunnyo mulungi, naye bwe guggwaamu ensa, guzzibwamu gutya obuka bwagwo? Noolwekyo mube n’omunnyo mu mmwe era mubeerenga n’emirembe buli muntu ne munne.”
Footnotes
- 9:29 mu biwandiiko ebimu kigamba kusaba na kusiiba
Copyright © 1999, 2000, 2002, 2003, 2009 by Holman Bible Publishers, Nashville Tennessee. All rights reserved.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.