Ebyabaleevi 16:29-34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Olunaku olw’Okutangiririra
29 (A)“Etteeka lino munaalikwatanga emirembe gyonna: Ku lunaku olw’ekkumi mu mwezi ogw’omusanvu muneelesanga eby’amasanyu byonna n’emirimu gyammwe gyonna, temuukolerengako mulimu gwonna mmwe bannannyini nsi era n’abagwira ababeera mu mmwe, 30 (B)kubanga ku lunaku olwo mulitangiririrwa ne mufuulibwa abalongoofu. Bwe mutyo munaabeeranga muvudde mu byonoono byammwe ne mufuulibwa balongoofu mu maaso ga Mukama Katonda. 31 (C)Lunaabanga ssabbiiti nga lwa kuwummula; era kibasaanira okwefiisanga bye mwandiyagadde; etteeka eryo linaabanga lya mirembe gyonna. 32 (D)Kabona eyafukibwako amafuta ag’omuzeeyituuni era ng’ayawulibbwa n’asikira kitaawe, y’anaatangiririranga. Anaayambalanga ebyambalo ebya linena ebitukuvu, 33 (E)n’atangiririra Ekifo Awatukuvu Ennyo, n’atangiririra n’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, n’atangiririra n’ekyoto, ne bakabona awamu n’abantu bonna mu kibiina kyonna.
34 (F)“Etteeka eryo linaababeereranga lya mirembe gyonna, ng’okutangiririra okwo kukolebwa omulundi gumu buli mwaka olw’ebyonoono byonna eby’abaana ba Isirayiri.”
Awo byonna ne bikolebwa nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.