Add parallel Print Page Options

25 Era n’amasavu ag’ekiweebwayo olw’ekibi anaagookeranga ku kyoto.

26 (A)“Omusajja anaatanga embuzi esibiddwako omusango, eraze mu Azazeri mu ddungu, kinaamugwaniranga okwoza engoye ze n’okunaaba omubiri gwe n’amazzi; oluvannyuma anaakomangawo mu lusiisira. 27 (B)Ennyana ennume n’embuzi ennume ez’okuwaayo olw’ebiweebwayo olw’ekibi, era omwava omusaayi ogwaleetebwa mu Kifo eky’Awatukuvu Ennyo olw’okutangiririra, ziteekwa okufulumizibwa ebweru w’olusiisira, amaliba gaazo n’ennyama yaazo eriibwa n’eyo eteriibwa, zonna binaayokebwanga. 28 Oyo anaazokyanga anaateekwanga okwoza engoye ze, n’okunaaba omubiri gwe mu mazzi; oluvannyuma anaakomangawo mu lusiisira.

Read full chapter