Koseya 12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Efulayimu alya mpewo;
agoba empewo ez’ebuvanjuba olunaku lwonna,
era bongera ku bulimba ne ku ttemu.
Bakola endagaano n’Obwasuli,
n’aweereza n’amafuta e Misiri.
2 (B)Mukama alina ensonga ne Yuda,
era alibonereza Yakobo ng’engeri ze bwe ziri.
Amusasule ng’ebikolwa bye bwe biri.
3 (C)Bwe yali mu lubuto lwa nnyina yakwata muganda we ku kisinziiro,
ne mu bukulu bwe n’ameggana ne Katonda.
4 (D)Yameggana ne malayika n’amuwangula,
n’akaaba n’amwegayirira.
Yamusisinkana e Beseri,
n’ayogera naye.
5 (E)Mukama Katonda ow’Eggye,
Mukama ly’erinnya lye erijjukirwa.
6 (F)Naye oteekwa okudda eri Katonda wo;
kuuma okwagala n’obwenkanya,
olindirirenga Katonda wo ennaku zonna.
7 (G)Omusuubuzi akozesa ebipimo eby’obulimba,
era anyumirwa okukumpanya.
8 (H)Efulayimu yeewaana ng’ayogera nti,
“Ndi mugagga nnyo, nfunye ebintu bingi.
Mu bugagga bwange bwonna, tebayinza kundabamu kibi
wadde okwonoona kwonna.”
9 (I)Nze Mukama Katonda wo,
eyakuggya mu Misiri;
ndikuzzaayo n’obeera mu weema nate,
nga mu nnaku ez’embaga ezaalagirwa.
10 (J)Nayogera eri bannabbi,
ne mbawa okwolesebwa kungi,
ne mbagerera engero nga mpita mu bo.
11 (K)Gireyaadi butali butuukirivu
era n’abantu baamu butaliimu.
Mu Gireyaadi basalirayo ente ennume ne baziwaayo nga ssaddaaka,
era ebyoto byabwe binaaba ng’entuumo ey’amayinja mu nnimiro ennime.
12 (L)Yakobo yaddukira mu nsi ya Alamu;[a]
Isirayiri yaweereza okufuna omukazi,
era okumufuna yalundanga ndiga.
13 (M)Mukama yakozesa nnabbi okuggya Isirayiri mu Misiri,
era n’akozesa nnabbi okumukuuma.
14 (N)Naye Efulayimu amusoomoozezza era amusunguwazizza,
Mukama we kyaliva amutekako omusango olw’omusaayi gwe yayiwa,
n’amusasula olw’obunyoomi bwe.
Footnotes
- 12:12 Alamu bwe bukiikakkono obw’ebugwanjuba bwa Mesopotamiya
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.