Isaaya 60:7
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
7 (A)N’ebisibo byonna eby’e Kedali birikukuŋŋanyizibwa,
endiga ennume ez’e Nebayoosi zirikuweereza.
Zirikkirizibwa ng’ekiweebwayo ku kyoto kyange
era ndyolesa ekitiibwa kyange mu yeekaalu yange.
Isaaya 60:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)“Abaana b’abamawanga amalala balizimba bbugwe wo,
era bakabaka baabwe bakuweereze;
Olw’obusungu bwange, nakukuba,
naye mu kusaasira kwange ndikukwatirwa ekisa.
Isaaya 61:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Abaamawanga balibalundira ebisibo byammwe,
abagwira babakolere mu nnimiro zammwe ne mu nnimiro z’emizabbibu.
Isaaya 56:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Alina omukisa omuntu akola ekyo,
n’omwana w’omuntu akinyweererako.
Akwata ssabbiiti obutagyonoona,
n’akuuma omukono gwe obutakola kibi na kimu.”
Isaaya 56:4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
4 Kubanga bw’atyo bw’ayogera Mukama nti,
“Eri abalaawe abakwata ssabbiiti zange
ne basalawo okugoberera ebyo ebinsanyusa,
ne bakuuma endagaano yange,
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.