Isaaya 42:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)Kyeyava abafukako obusungu bwe obubuubuuka
n’obulumi bw’entalo.
Beebungululwa ennimi z’omuliro naye tebaategeera.
Gwabookya naye ne batakissaako mwoyo.
Nakkumu 1:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Ani ayinza okuyimirira mu maaso ge ng’asunguwadde?
Ani ayinza okugumira obusungu bwe obw’amaanyi?
Ekiruyi kye kibuubuuka ng’omuliro,
n’enjazi n’eziyatikayatika.
Isaaya 2:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Olunaku lujja okweyisa kw’omuntu
n’amalala ge lwe birizikirizibwa,
era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku olwo.
Isaaya 2:12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
12 (A)Kubanga Mukama Katonda ow’Eggye alina olunaku lw’ategese
eri abo bonna ab’amalala era abeewanise,
eri ebyo byonna eby’egulumiza ebijjudde
okwemanya n’okwewulira.
Isaaya 2:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Era okwegulumiza kw’abantu kulijemulukuka,
n’amalala g’abantu galissibwa;
era Mukama Katonda yekka yaligulumizibwa ku lunaku olwo.
Danyeri 4:37
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
37 (A)Kale nze Nebukadduneeza kyennaava mmutendereza era ne mmuwa ekitiibwa ne mmugulumiza Kabaka ow’eggulu, kubanga emirimu gye gyonna gya mazima n’amakubo ge ga nsonga, n’abo ab’amalala abakkakkanya.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.