Isaaya 31:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Ng’ebinyonyi bwe bibuukira waggulu,
bw’atyo Mukama Katonda ow’Eggye bw’alisaanikira Yerusaalemi;
alikikuuma, n’akiwonya,
alikiyitamu n’akirokola.”
Isaaya 38:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Era ndikuwonya ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli: Era ndikuuma ekibuga kino.
Read full chapter
Isaaya 43:25
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
25 (A)“Nze, Nze mwene,
nze wuuyo asangula ebyonoono byo ku lwange nze,
so sirijjukira bibi byo.
Isaaya 48:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Olw’erinnya lyange
ndwawo okusunguwala. Olw’ettendo lyange
ndwawo okukusunguwalira nneme okukuzikiriza.
Isaaya 48:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Ku lwange nze,
ku lwange nze ndikikola. Erinnya lyange nga livumiddwa.
Ekitiibwa kyange sirikiwa mulala.
2 Bassekabaka 20:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Ndikwongerako emyaka emirala kkumi n’ettaano, era laba ndikulokola ggwe n’ekibuga kino mu mukono gwa kabaka w’e Bwasuli, nga nnwanirira ekibuga kino ku lwange nze ne ku lw’omuddu wange Dawudi.’ ”
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.