The Line of Seth

This is the document containing the family[a] records(A) of Adam.[b] On the day that God created man,[c] he made him in the likeness of God; he created them male and female. When they were created, he blessed them and called them mankind.[d]

Adam was 130 years old when he fathered a son in his likeness, according to his image, and named him Seth. Adam lived 800 years after he fathered Seth, and he fathered other sons and daughters. So Adam’s life lasted 930 years; then he died.

Seth was 105 years old when he fathered Enosh. Seth lived 807 years after he fathered Enosh, and he fathered other sons and daughters. So Seth’s life lasted 912 years; then he died.

Enosh was 90 years old when he fathered Kenan. 10 Enosh lived 815 years after he fathered Kenan, and he fathered other sons and daughters. 11 So Enosh’s life lasted 905 years; then he died.

12 Kenan was 70 years old when he fathered Mahalalel. 13 Kenan lived 840 years after he fathered Mahalalel, and he fathered other sons and daughters. 14 So Kenan’s life lasted 910 years; then he died.

15 Mahalalel was 65 years old when he fathered Jared. 16 Mahalalel lived 830 years after he fathered Jared, and he fathered other sons and daughters. 17 So Mahalalel’s life lasted 895 years; then he died.

18 Jared was 162 years old when he fathered Enoch. 19 Jared lived 800 years after he fathered Enoch, and he fathered other sons and daughters. 20 So Jared’s life lasted 962 years; then he died.

21 Enoch was 65 years old when he fathered Methuselah. 22 And after he fathered Methuselah, Enoch walked with God(B) 300 years and fathered other sons and daughters. 23 So Enoch’s life lasted 365 years. 24 Enoch walked with God; then he was not there because God took him.(C)

25 Methuselah was 187 years old when he fathered Lamech. 26 Methuselah lived 782 years after he fathered Lamech, and he fathered other sons and daughters. 27 So Methuselah’s life lasted 969 years; then he died.

28 Lamech was 182 years old when he fathered a son. 29 And he named him Noah,[e] saying, “This one will bring us relief from the agonizing labor of our hands, caused by the ground the Lord has cursed.”(D) 30 Lamech lived 595 years after he fathered Noah, and he fathered other sons and daughters. 31 So Lamech’s life lasted 777 years; then he died.

32 Noah was 500 years old, and he fathered Shem, Ham, and Japheth.

Footnotes

  1. 5:1 Lit written family
  2. 5:1 Or mankind
  3. 5:1 Or Adam, human beings
  4. 5:2 Hb ’adam
  5. 5:29 In Hb, the name Noah sounds like “bring us relief.”

Okuva ku Adamu okutuuka ku Nuuwa

(A)Luno lwe lulyo lwa Adamu.

Katonda bwe yatonda omuntu, yamukola mu kifaananyi kya Katonda. (B)Yabatonda omusajja n’omukazi, n’abawa omukisa n’abatuuma, “abantu.”

(C)Adamu bwe yaweza emyaka kikumi mu asatu, n’azaala omwana owoobulenzi amufaanana, mu kifaananyi kye, n’amutuuma Seezi. Seezi bwe yamala okuzaalibwa, Adamu n’amala emyaka lunaana, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. (D)Emyaka gyonna Adamu gye yamala gyali lwenda mu asatu, n’afa.

Seezi bwe yaweza emyaka kikumi mu etaano n’azaala Enosi. Seezi bwe yamala okuzaala Enosi n’awangaala emyaka emirala lunaana mu musanvu n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. Bwe gityo emyaka gyonna egya Seezi ne giba lwenda mu kkumi n’ebiri n’alyoka afa.

Enosi bwe yaweza emyaka kyenda n’azaala Kenani. 10 Enosi bwe yamala okuzaala Kenani n’awangaala emyaka emirala lunaana mu kkumi n’etaano, omwo n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. 11 Bwe gityo emyaka gyonna Enosi gye yamala ne giba lwenda mu etaano; n’alyoka afa.

12 Kenani bwe yaweza emyaka nsanvu n’azaala Makalaleri. 13 Kenani n’awangaala emyaka emirala lunaana mu ana, n’azaaliramu abaana aboobulenzi n’aboobuwala. 14 Emyaka gyonna Kenani gye yamala ne giba lwenda mu kkumi.

15 Makalaleri bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano n’azaala Yaredi. 16 Bwe yamala okuzaala Yaredi n’awangaala emyaka emirala lunaana mu asatu n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 17 Ennaku zonna eza Makalaleri ne ziba emyaka lunaana mu kyenda mu etaano, n’afa.

18 (E)Yaredi bwe yaweza emyaka kikumi mu nkaaga mu ebiri n’azaala Enoka. 19 Yaredi bwe yamala okuzaala Enoka n’awangaala emyaka emirala lunaana, omwo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 20 Bwe gityo emyaka gyonna Yaredi gye yamala ne giba lwenda mu nkaaga mu ebiri, n’afa.

21 Enoka bwe yaweza emyaka nkaaga mu etaano n’azaala Mesuseera. 22 (F)Enoka n’atambulira wamu ne Katonda, okumala emyaka ebikumi bisatu nga Mesuseera amaze okuzaalibwa, n’azaala abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 23 Bwe gityo emyaka gyonna egya Enoka ne giba ebikumi bisatu mu nkaaga mu etaano. 24 (G)Enoka yatambula ne Katonda, n’ataddamu kulabika, kubanga Katonda yamutwala.

Mesuseera ne Nuuwa

25 Mesuseera bwe yali nga yaakamala emyaka kikumi mu kinaana mu musanvu n’azaala Lameka. 26 Bwe yamala okuzaala Lameka n’awangaala emyaka emirala lusanvu mu kinaana mu ebiri, n’azaala abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 27 Bwe gityo emyaka gyonna Mesuseera gye yamala ne giba lwenda mu nkaaga mu mwenda; n’afa.

28 Lameka bwe yali nga wa myaka kikumi mu kinaana mu ebiri n’azaala omwana owoobulenzi 29 (H)n’amutuuma Nuuwa, ng’agamba nti, “Okuva mu ttaka Mukama lye yakolimira, ono yalituweezaweeza mu mulimu gwaffe, ne mu kutegana kw’emikono gyaffe.” 30 Lameka n’awangaala emyaka emirala bitaano mu kyenda mu etaano ng’amaze okuzaala Nuuwa, mu gyo n’azaaliramu abaana abalala aboobulenzi n’aboobuwala. 31 Bwe gityo emyaka gyonna Lameka gye yawangaala ne giba lusanvu mu nsanvu mu musanvu.

32 Nuuwa bwe yaweza emyaka ebikumi bitaano n’azaala Seemu, ne Kaamu ne Yafeesi.