Engero 10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Engero za Sulemaani
10 (A)Engero za Sulemaani:
Omwana ow’amagezi asanyusa kitaawe;
naye omwana omusirusiru anakuwaza nnyina.
2 (B)Eby’obugagga ebifuniddwa mu makubo amakyamu tebirina kye bigasa,
naye abatuukirivu banunulwa okuva mu kufa.
3 (C)Mukama taalekenga mutuukirivu we kufa njala,
naye aziyiza abakozi b’ebibi okufuna bye beetaaga.
4 (D)Emikono emigayaavu gyavuwaza,
naye emikono eminyiikivu gireeta obugagga.
5 Omuvubuka ow’amagezi akungulira mu biseera ebituufu,
naye oyo eyeebakira mu biro eby’okukunguliramu mwana aswaza ennyo.
6 (E)Omukisa gubeera ku mutwe gw’omutuukirivu,
naye akamwa k’omukozi w’ebibi kajjula obukambwe.
7 (F)Omutuukirivu anajjukirwanga n’essanyu,
naye erinnya ly’omubi linaavundanga.
8 (G)Alina omutima ogw’amagezi agondera ebiragiro,
naye omusirusiru ayogerayogera, azikirizibwa.
9 (H)Atambulira mu bwesimbu y’atambula emirembe,
naye akwata amakubo amakyamu alitegeerebwa.
10 (I)Oyo atta ku liiso ng’akweka amazima aleeta ennaku,
n’omusirusiru ayogerayogera alizikirizibwa.
11 (J)Akamwa ak’omutuukirivu nsulo ya bulamu,
naye akamwa k’omukozi w’ebibi kajjula bulabe.
12 (K)Obukyayi buleeta enjawukana,
naye okwagala kubikka ku bibi bingi.
13 (L)Amagezi gasangibwa ku mimwa gy’oyo alina okutegeera,
naye omuggo gukangavvula oyo atamanyi kusalawo bulungi.
14 (M)Abantu ab’amagezi batereka okumanya,
naye akamwa k’omusirusiru kaaniriza kuzikirira.
15 (N)Obugagga bw’omugagga kye kibuga kye ekiriko ebigo,
naye obwavu kwe kuzikirira kw’omwavu.
16 (O)Empeera y’omutuukirivu bulamu,
naye empeera y’omukozi w’ebibi emuleetera kubonerezebwa.
17 (P)Oyo assaayo omwoyo eri okubuulirirwa aba mu kkubo ery’obulamu,
naye oyo atassaayo mwoyo ku kunenyezebwa aleetera abalala okuwaba.
18 Oyo akisa obukyayi alina emimwa egirimba,
era omuntu akonjera, musirusiru.
19 (Q)Mu bigambo ebingi temubula kwonoona,
naye akuuma olulimi lwe aba wa magezi.
20 Olulimi lw’omutuukirivu ffeeza ya muwendo,
naye omutima gw’omukozi w’ebibi gugasa katono.
21 (R)Ebigambo by’omutuukirivu biriisa abantu bangi,
naye abasirusiru bazikirira olw’okubulwa amagezi.
22 (S)Omukisa gwa Mukama guleeta obugagga
era tagwongerako buyinike.
Okuwangaala Okuli mu Kutya Mukama
23 (T)Omusirusiru asanyukira okukola ebibi,
naye omuntu alina okutegeera asanyukira eby’amagezi.
24 (U)Omukozi w’ebibi ky’atayagala kirimutuukako,
naye abatuukirivu bye baagala biribaweebwa.
25 (V)Embuyaga bw’ejja, abakozi b’ebibi batwalibwa,
naye abatuukirivu banywera emirembe gyonna.
26 (W)Ng’omususa bwe gunyeenyeza amannyo, n’omukka nga bwe gubalagala mu maaso,
n’omugayaavu bw’abeera bw’atyo eri abamutuma.
27 (X)Okutya Mukama kuwangaaza omuntu,
naye emyaka gy’ababi girisalibwako.
28 (Y)Essuubi ly’abatuukirivu livaamu ssanyu,
naye okusuubira kw’abakozi b’ebibi tekulivaamu kantu.
29 (Z)Ekkubo lya Mukama kye kiddukiro ky’abatuukirivu, naye abakozi b’ebibi libasaanyaawo.
30 (AA)Abatuukirivu tebajjululwenga ennaku zonna,
naye abakozi b’ebibi tebalisigala mu nsi.
31 (AB)Akamwa k’omutuukirivu koogera eby’amagezi,
naye olulimi olwogera eby’obubambavu lulisalibwamu.
32 (AC)Emimwa gy’omutuukirivu gyogera ebisaanidde;
naye emimwa gy’omukozi w’ebibi gyogera eby’obubambavu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.