Ekyamateeka Olwokubiri 32:10-12
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
10 (A)Yamuyisanga mu ddungu,
mu nsi enkalu eya kikuŋŋunta.
Yamuzibiranga, n’amulabiriranga,
n’amukuumanga ng’emmunye ey’eriiso lye.
11 (B)Ng’empungu bw’enyegenya ku kisu kyayo,
n’epaapaalira waggulu w’obwana bwayo,
era nga bw’eyanjuluza ebiwaawaatiro byayo, n’ebusitula,
n’ebutumbiiza ku biwaawaatiro byayo,
12 (C)Mukama Katonda yekka ye yamukulemberanga;
so tewabangawo katonda mulala.
Isaaya 46:3-4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)“Mumpulire mmwe, ennyumba ya Yakobo
n’abantu bonna abasigaddewo mu nnyumba ya Isirayiri.
Mmwe be nnalera okuva lwe mwava mu lubuto,
be nasitula okuva lwe mwazaalibwa.
4 (B)Ne mu bukadde bwammwe nzija kusigala nga ye nze Nzuuyo.
Ne bwe muliba mulina envi nnaabasitulanga.
Nze nabakola era nze nnaabawekanga.
Nnaabasitulanga era nnaabanunulanga.
Isaaya 63:9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
9 (A)Yabonaabonera wamu nabo mu kubonaabona kwabwe kwonna,
era malayika ayimirira mu maaso ge n’abawonya.
Mu kwagala kwe n’ekisa kye yabanunula;
yabayimusa
n’abeetikka mu nnaku zonna ez’edda.
Koseya 11:3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Nze nayigiriza Efulayimu okutambula,
nga mbakwata ku mukono;
naye tebategeera
nga nze nabawonya.
Ebikolwa by’Abatume 13:18
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
18 (A)n’abagumiikiriza okumala emyaka amakumi ana nga bali mu ddungu.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.