Ekyamateeka Olwokubiri 2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Emyaka gye Baamala mu Ddungu
2 (A)Awo ne tukyuka ne tuddayo mu ddungu nga twolekera Ennyanja Emyufu, nga Mukama bwe yandagira. Ne tumala ennaku nnyingi nnyo nga tutambulira mu nsi ey’ensozi ey’e Seyiri.
2 Mukama n’aŋŋamba nti, 3 “Mu nsi eno ey’ensozi mutambuliddemu ekiseera kiwanvu, era kimala; kale kaakano mukyuke mulage mu bukiikakkono. 4 (B)Abantu bawe ebiragiro bino nti, ‘Muli kumpi okutuuka mu nsi ya baganda bammwe, abazzukulu ba Esawu ababeera mu Seyiri, bajja kubatya, kyokka mubeegendereza nnyo. 5 (C)Temubasosonkerezaako lutalo, kubanga mmwe sijja kubawa ku ttaka lyabwe, wadde akatundu akatono awagya ekigere ky’omuntu. Kubanga ensi ey’ensozi eya Seyiri nagiwa dda Esawu okuba obutaka bwe obwenkalakkalira. 6 Mubagulangako emmere gye munaalyanga nga mugisasulira n’ensimbi, n’amazzi ag’okunywa nago nga mugasasulira ensimbi.’ ”
7 (D)Mukama Katonda wo akuwadde omukisa mu mirimu gyonna gy’okola n’emikono gyo. Amanyi nti otambulira mu ddungu lino eddene ennyo bwe lityo. Era Mukama Katonda wammwe abadde akulabirira emyaka gino gyonna amakumi ana, ng’abeera naawe, era nga buli kye weetaaga akikuwa.
8 (E)Bwe tutyo ne tweyongerayo mu lugendo lwaffe nga tuyita ku baganda baffe abazzukulu ba Esawu ababeera mu Seyiri. Ne tuleka ekkubo ly’Alaba eririnnyalinnya okuva Erasi ne Eziyonigeba, ne tukwata ekkubo eriyita mu ddungu lya Mowaabu.
9 (F)Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Abamowaabu temubasunguwaza wadde okubasosonkerezaako olutalo, kubanga sigenda mmwe kubawa ku ttaka lyabwe mu Ali, ettaka eryo namala dda okuliwa bazzukulu ba Lutti okubeera obutaka bwabwe.” 10 (G)Abemi be baabeeranga mu kitundu ekyo, nga basajja banene, nga ba maanyi, nga bangi nnyo, era nga bawanvu okwenkana nga Abanaki. 11 Baayitibwanga Baleefa okufaanana nga Abanaki bwe baayitibwanga, naye Abamowaabu nga bo babayita Bemi. 12 (H)Mu biseera eby’edda Abakooli nabo baabeeranga mu Seyiri, okutuusa bazzukulu ba Esawu bwe baabasiguukulula ne babagobamu ne babazikiriza, ensi eyo ne bagyetwalira, bo ne bagibeeramu; okufaananako ng’Abayisirayiri bwe balikola mu nsi Mukama Katonda gye yabawa ey’obusika bw’obutaka bwabwe obw’enkalakkalira. 13 Mukama n’agamba nti, “Musituke musomoke akagga Zeredi.” Ne tusomoka.
14 (I)Olwo nga kasookedde tuva mu Kadesubanea okutuusa lwe twasomoka akagga Zeredi gyali giweze emyaka amakumi asatu mu munaana. Ekiseera ekyo we kyaggweerako ng’abasajja abalwanyi bonna mu lusiisira lw’abaana ba Isirayiri, ab’omu mulembe ogwo, nga bafudde baweddewo, nga Mukama Katonda bwe yabalayirira. 15 (J)Kubanga Mukama Katonda yamalirira okubazikiriza n’omukono gwe okutuusa ng’abamaliddemu ddala mu lusiisira lwabwe.
16 Awo olwatuuka abasajja abalwanyi bonna bwe baamala okufa, nga bazikiridde baweddewo mu bantu, 17 Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, 18 “Olwa leero munaasala ensalo ya Mowaabu mu Ali. 19 (K)Naye bwe musemberera Abamoni temubasunguwaza so temubasosonkerezaako lutalo, kubanga mmwe sigenda kubawa ku ttaka ly’Abamoni n’akatono okuba obutaka bwammwe, kubanga ettaka eryo namala dda okuliwa bazzukulu ba Lutti okubeera obutaka bwabwe obw’enkalakkalira.”
20 Ekitundu ekyo era kyali kiyitibwa nsi ya Baleefa, kubanga Abaleefa be baabeerangamu naye Abamoni nga babayita Bazamuzumu. 21 (L)Baali basajja ba maanyi era nga bangi nnyo, nga bawanvu ng’Abanaki. Naye Mukama Katonda n’abawaayo eri Abamoni ne babazikiriza, ne batwala ensi yaabwe ne bagituulamu. 22 (M)Ne kifaananako nga Mukama bwe yazikiriza Abakooli abaalinga mu Seyiri, ensi yaabwe n’agiwa bazzukulu ba Esawu okuba obutaka bwabwe obw’enkalakkalira n’okutuusa leero. 23 (N)Abavi abaabeeranga mu byalo ebyesuddeko okutuuka e Gaza, Abakafutoli abaava e Kafutoli bajja ne babazikiriza ne batwala ensi yaabwe bo ne bagibeeramu.
24 (O)“Musituke mutambule muyite mu kiwonvu ekya Alunoni. Otegeere kino nga Sikoni Omwamoli Kabaka w’e Kesuboni mmugabudde mu mukono gwo n’ensi ye yonna. Kale tandika okumutabaala, n’ensi ye ogyetwalire efuukire ddala yiyo ya butaka bwo. 25 (P)Okutandika n’olunaku lwa leero amawanga gonna ag’oku nsi nzija kugateekamu entiisa bakankane nga bawulidde ettutumu lyo babeere mu kutiitiira n’okunyolwa ku lulwo.”
Okuwangula Sikoni Kabaka w’e Kesuboni
26 Nga tuli mu ddungu ly’e Kedemosi natumira Sikoni Kabaka w’e Kesuboni n’obubaka obw’okuteesa emirembe nga mmugamba nti, 27 (Q)“Tukkirize tuyite mu nsi yo. Tujja kutambulira mu luguudo mwokka nga tetuwunjuseeko kulaga ku ludda olwa ddyo oba olwa kkono. 28 (R)Onootuguzanga emmere gye tunaalyanga nga tugisasulira ensimbi, n’amazzi ge tunaanywangako, nago nga tugasasulira ensimbi. Naye tuleke tuyite mu nsi yo nga tutambula n’ebigere, 29 nga bazzukulu ba Esawu abaabeeranga mu Seyiri, n’Abamowaabu abaabeeranga mu Ali bwe baatuleka, okutuusa lwe tulimala okusomoka Yoludaani ne tutuuka mu nsi Mukama Katonda waffe gy’ategese okutuwa.” 30 (S)Naye Sikoni Kabaka wa Kesuboni n’atatukkiriza kuyitawo. Kubanga Mukama Katonda wammwe yali akakanyazizza omwoyo gwe era ng’awaganyazizza omutima gwe, alyoke amugabule mu mukono gwammwe nga bwe kiri leero.
31 (T)Awo Mukama Katonda n’aŋŋamba nti, “Laba, ntandise okugabula Sikoni n’ensi ye mu mukono gwo. Kale tandika okuwangula ensi ye yonna, olyoke ogyefunire okubeera obusika bwo era obutaka bwo obw’enkalakkalira.”
32 (U)Kabaka Sikoni n’eggye lye lyonna ne batulumba mu lutabaalo olw’e Yakazi. 33 (V)Mukama Katonda waffe n’agabula Sikoni n’eggye lye lyonna, ne batabani be, mu mukono gwaffe ne tubawangula. 34 (W)Mu kaseera ako twawamba ebibuga bye byonna ne tubizikiriza n’abantu bonna, abasajja, n’abakazi, n’abaana abato, tetwalekerawo ddala. 35 Naye ente ne tuzeetwalira awamu n’omunyago gwe twaggya mu bibuga bye twawamba. 36 (X)Okuva ku Aloweri ekiri ku lukugiro lw’Ekiwonvu Alumoni, n’okuva ku kibuga ekiri mu kiwonvu ekyo, n’okutuukira ddala mu Gireyaadi, tewaaliwo kibuga na kimu ekyatusukkirira amaanyi. Mukama Katonda waffe byonna yabitugabula mu mukono gwaffe. 37 (Y)Naye ebifo, Mukama Katonda waffe bye yatulagira obutabisemberera, y’ensi y’abazzukulu ba Amoni, ne ku mbalama zonna ez’omugga Yaboki, n’ebibuga eby’omu nsi ey’ensozi; ebyo byo yatugaana okubikwatirako ddala.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.