Ebyabaleevi 26:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ebibonerezo ebiva mu Bujeemu
14 (A)“Naye bwe mutampulirenga, ne mutagondera biragiro ebyo byonna,
Read full chapter
Yoswa 23:15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
15 (A)Naye ng’ebintu byonna ebirungi Mukama Katonda wammwe bye yabasuubiza nga bwe bibaweereddwa, bw’atyo Mukama bw’anaabatuusangako, ebibi byonna okutuusa ng’abazikirizza okuva mu nsi eno ennungi Mukama Katonda wammwe gy’abawadde.
Read full chapter
Danyeri 9:11
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
11 (A)Isirayiri yenna bamenye amateeka go ne bakuvaako, era bakujeemedde.
“Noolwekyo ebikolimo n’ebirayiro ebyawandiikibwa mu mateeka ga Musa omuddu wa Mukama kyebivudde bitutuukako kubanga twayonoona mu maaso go.
Read full chapter
Malaki 2:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Bwe mutaakyuse ku mpisa zammwe n’engeri zammwe, bwe mutaafeeyo kuwa linnya lyange kitiibwa,” bw’ayogera Mukama ow’Eggye, “kale ndibasindikira ekikolimo era emikisa gyammwe girifuuka ekikolimo. Ate ddala mmaze okubakolimira kubanga ebikulu gye ndi temubitaddeeko mwoyo.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.