Add parallel Print Page Options

(A)“Ojja kuddiranga obuwunga bw’eŋŋaano obulungi ofumbe emigaati kkumi n’ebiri ng’okozesa desimoolo bbiri eza efa[a]. (B)Onoogitegekanga mu nnyiriri bbiri nga mu buli lunyiriri mulimu emigaati mukaaga. Onoogiteekanga ku mmeeza eya zaabu omuka awali Mukama. (C)Era ku buli lunyiriri onooteekangako obubaane obuka nga bugendera wamu n’emigaati nga kye kijjukizo eky’ekiweebwayo eri Mukama Katonda nga kyokeddwa mu muliro. (D)Emigaati egyo ginaategekebwanga awali Mukama buli Ssabbiiti awatali kwosa, ng’ekyo kikolebwa ku lw’abaana ba Isirayiri nga ye ndagaano ey’emirembe n’emirembe.

Read full chapter

Footnotes

  1. 24:5 Efa ezo ze liita nnya n’ekitundu

29 (A)Baavunaanyizibwanga emigaati egy’okulaga ku mmeeza, n’obutta obulungi obw’ekiweebwayo eky’obutta, n’obugaati obutazimbulukusibbwa, n’okufumba, n’okutabula, olw’ebiweebwayo, n’ebigero byonna mu bungi bwabyo ne mu bunene bwabyo.

Read full chapter

11 (A)Buli nkya na buli kawungeezi bawaayo ebiweebwayo ebyokebwa n’obubaane obwa kawoowo eri Mukama, ne bategeka n’emigaati egy’okulaga ku mmeeza eya zaabu omwereere, ne bakoleeza n’ettaala eziri ku bikondo ebya zaabu buli kawungeezi. Tugondera Mukama Katonda waffe nga tukola bye yatukuutira, naye mmwe mwamuvaako.

Read full chapter