Ebyabaleevi 18:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Mugonderenga ebiragiro byange awamu n’amateeka gange, kubanga buli muntu anaabikwatanga mu byo mwanaatambulizanga obulamu bwe. Nze Mukama Katonda.
Read full chapter
Abaruumi 10:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 (A)Musa awandiika ku butuukirivu obuva mu mateeka nti, “Omuntu alikola ebintu ebyo aliba mulamu mu byo.”
Read full chapter
Isaaya 61:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)“Kubanga nze, Mukama, njagala obwenkanya,
nkyawa okunyaga era n’obutali butuukirivu.
Mu bwesigwa bwange ndibasasula
era nkole nabo endagaano ey’emirembe n’emirembe.
Isaaya 54:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Obusungu obubuubuuka bwe bwankwata
nakweka amaaso gange okumala ekiseera,
naye ndikukwatirwa ekisa n’okwagala okutaliggwaawo,”
bw’ayogera Mukama Katonda,
Omununuzi wo.
Ebikolwa by’Abatume 13:34
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
34 (A)Kubanga Katonda yasuubiza okumuzuukiza abeere mulamu nate, era nga takyaddayo kuvunda. Ekyawandiikibwa nga bwe kyogera nti:
“ ‘Ndikuwa emikisa egy’olubeerera era emitukuvu gye nasuubiza Dawudi.’
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.