Ebikolwa by’Abatume 1:13-15
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
13 (A)Ne balaga mu kisenge ekya waggulu mu nnyumba mwe baali basula, era be bano:
Peetero, ne Yokaana ne Yakobo, ne Andereya,
ne Firipo ne Tomasi,
ne Battolomaayo, ne Matayo,
ne Yakobo, omwana wa Alufaayo, ne Simooni eyayitibwanga “Omuzerote[a]”, ne Yuda, omwana wa Yakobo.
14 (B)Abo bonna ne beeweerayo ddala n’omutima gumu okusaba wamu n’abakazi ne Maliyamu nnyina Yesu ne baganda ba Yesu.
Matiya Asikira Yuda
15 Awo mu nnaku ezo, Peetero n’ayimirira wakati mu booluganda abaali bakuŋŋaanye nga bawera nga kikumi mu abiri, n’ayogera nti,
Read full chapterFootnotes
- 1:13 Omuzerote Abazerote be baayeekeranga gavumenti y’Abaruumi mu biro ebyo
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.