Danyeri 4:8-9
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Naye oluvannyuma Danyeri gwe natuuma Berutesazza ng’erinnya lya katonda wange bwe liri, era nga n’omwoyo ogwa bakatonda abatukuvu guli mu ye, n’ajja mu maaso gange ne mutegeeza ekirooto.
9 (B)Ne mugamba nti, “Berutesazza, omukulu w’abafumu, mmanyi ng’omwoyo ogwa bakatonda abatukuvu guli mu ggwe, so tewali kigambo eky’ekyama ekikuzibuwalira. Ntegeeza ekirooto kyange, n’amakulu gaakyo.
Read full chapter
Danyeri 4:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Danyeri Avvuunula Ekirooto
19 (A)Awo Danyeri eyayitibwanga Berutesazza n’atawanyizibwa mu mutima okumala akabanga, ne yeeraliikirira. Kabaka n’amugamba nti, “Berutesazza, ekirooto n’amakulu gaakyo bireme okukweraliikiriza.”
Berutesazza n’addamu nti, “Mukama wange, ekirooto kibe nga kyogera ku abo abakukyawa, n’amakulu gaakyo gabe nga googera ku balabe bo!
Read full chapter
Danyeri 5:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 Bantegeezezza ng’omwoyo wa bakatonda abatukuvu ali mu ggwe, era olaba ebitalabibwa bantu abaabulijjo, otegeera era oli w’amagezi amasukkirivu.
Read full chapter
Danyeri 1:17
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
17 (A)Abavubuka abo abana, Katonda n’abawa amagezi n’okutegeera eby’okuyiga eby’engeri zonna; Danyeri n’asukkirira mu kutegeera okw’okuvvuunula okwolesebwa okw’engeri zonna, n’ebirooto.
Read full chapter
Danyeri 2:47-48
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
47 (A)Kabaka n’agamba Danyeri nti, “Mazima Katonda wo ye Katonda wa bakatonda era ye Mukama wa bakabaka, era omubikkuzi w’ebyama ebyakisibwa, kubanga osobozebbwa okututegeeza ekyama ekyakisibwa.”
48 (B)Awo kabaka n’akuza Danyeri n’amufuula omuntu omukulu ennyo, n’amuwa n’ebirabo bingi. N’amufuula mufuzi w’essaza lyonna erya Babulooni, n’amuwa n’obuvunaanyizibwa obw’okukulira abasajja abagezigezi bonna ab’e Babulooni.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.