Balam 4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Okufuga kwa Debola
4 (A)Ekudi bwe yamala okufa Abayisirayiri ne bakola nate ebibi eri Mukama. 2 (B)Mukama n’abawaayo mu mikono gya Yabini Kabaka wa Kanani, eyabeeranga e Kazoli; omuduumizi w’eggye lye nga ye Sisera eyabeeranga e Kalosesi eky’abamawanga. 3 (C)Yabini yalina amagaali ag’ekyuma lwenda, era n’ajoogera Abayisirayiri emyaka amakumi abiri, kyebaava balaajaanira Mukama abayambe.
4 Awo Nnabbi Debola mukazi wa Leppidosi ye yali akulembera Abayisirayiri mu kiseera ekyo. 5 (D)Era bulijjo yatuulanga wansi w’olukindu olwayitibwanga olwa Debola wakati w’e Lama ne Beseri mu kitundu kya Efulayimu eky’ensozi: Abayisirayiri ne bajjanga gyali okubalamula. 6 (E)N’atumya Baraki mutabani wa Abinoamu ave mu Kedesi ekitundu kya Nafutaali, n’amugamba nti, “Mukama Katonda w’Abayisirayiri akulagidde nti, ‘Ggenda okuŋŋaanyize abasajja bo ku lusozi Taboli, obalondemu omutwalo gumu okuva mu kika ekya Nafutaali n’ekya Zebbulooni. 7 (F)Ndisindika gy’oli ku mugga Kisoni, Sisera omuduumizi w’eggye lya Yabini, n’amagaali ge n’abalwanyi be era ndibawaayo mu mikono gyo.’ ” 8 Baraki n’amuddamu nti, “Kale nnaagenda bw’onokkiriza ŋŋende naawe, naye bw’otokkirize nange siigende.”
9 (G)Debola n’amugamba nti, “Wewaawo nnaagenda naawe, naye ekitiibwa n’obuwanguzi tebiibe bibyo, kubanga Mukama aliwaayo Sisera awangulwe mu mikono gy’omukazi.” Baraki n’addayo ne Debola e Kedesi. 10 (H)Baraki n’ayita ab’ekika kya Zebbulooni n’ekya Nafutaali bakuŋŋaanire e Kedesi, abasajja omutwalo gumu ne bamugoberera awamu ne Debola.
Baraki awangula Sisera
11 (I)Keberi Omukeeni[a] yazimba eweema ye okumpi n’omuti omwera e Zaanannimu ekiri okumpi ne Kedesi oluvannyuma lw’okwawukana ne Bakeeni banne, bazzukulu ba Kobabu mukoddomi wa Musa.
12 Awo Sisera bwe yamanya nga Baraki mutabani wa Abinoamu atuuse ku Lusozi Taboli, 13 (J)n’akuŋŋaanya amagaali ge gonna lwenda ag’ekyuma, n’abalwanyi be bonna okuva ku Kalosesi eky’abamawanga okutuuka ku mugga Kisoni.
14 (K)Debola n’agamba Baraki nti, “Mukama si y’akukulembedde! Noolwekyo situkiramu kubanga olwa leero Mukama awaddeyo Sisera mu mikono gyo.” Awo Baraki n’ava ku lusozi Taboli n’abalwanyi be omutwalo gumu. 15 (L)Mukama n’afufuggaza n’ekitala Sisera n’amagaali gonna n’eggye lye lyonna nga Baraki alaba; Sisera n’abuuka mu ggaali lye, n’adduka. 16 (M)Baraki n’afubutula eggye lya Sisera n’amagaali gaalyo okutuuka e Keloseesi eky’amawanga; era n’abatta n’ekitala obutalekaawo yadde n’omu.
Okuttibwa Kwa Sisera
17 Naye Sisera n’addukira eri eweema ya Yayeeri mukazi w’Omukeeni Keberi: Kubanga waaliwo enkolagana wakati wa kabaka w’e Kazoli, Yabini n’ab’omu maka g’Omukeeni Keberi. 18 Yayeeri n’afuluma okusisinkana Sisera; n’amugamba nti, “Mukama wange yingira mu weema yange, totya.” Sisera n’ayingira mu weema. Yayeeri n’amubikkako omunagiro. 19 (N)Namwegayirira nti, “Mpa ku tuzzi nnyweko kubanga ennyonta enzita.” N’asumulula eddiba omufukibwa amata n’amunywesa oluvannyuma n’amubikkako. 20 Sisera n’agamba Yayeeri nti, “Yimirira mu mulyango gwa weema eno, omuntu yenna bw’ajja n’akubuuza obanga muno mulimu omusajja yenna, omuddamu nti, ‘Temuli.’ ”
21 (O)Awo Sisera bwe yali nga ali mu tulo tungi, Yayeeri mukazi wa Keberi n’addira enkondo ya weema n’ennyondo n’amusooberera n’amukomerera enkondo mu kyenyi, n’eyitamu n’ekwata n’ettaka n’afa.
22 Awo Baraki bwe yali nga anoonya Sisera, Yayeeri n’afuluma okumusisinkana, n’amugamba nti, “Jjangu nkulage omusajja gw’onoonya. Baraki n’ayingira mu weema n’alaba omulambo ggwa Sisera nga gukubiddwamu enkondo mu kyenyi.”
23 (P)Ku lunaku olwo Katonda n’awa Abayisirayiri obuwanguzi ku Yabini kabaka wa Kanani. 24 Abayisirayiri ne beeyongera okufufuggaza Yabini kabaka wa Kanani okutuusa lwe bamuzikiririzza ddala.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.