Abakkolosaayi 3
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ebiragiro ku Butukuvu
3 Nga bwe mwazuukirira awamu ne Kristo, munoonyenga ebintu ebiri mu ggulu, Kristo gy’atudde ku mukono ogwa ddyo ogwa Katonda. 2 (A)Mulowoozenga ku ebyo ebiri mu ggulu, so si ebiri ku nsi, 3 (B)kubanga mwafa era n’obulamu bwammwe bukwekeddwa mu Kristo mu Katonda. 4 (C)Kristo atuwa obulamu, bw’alirabisibwa, nammwe ne mulyoka mulabisibwa wamu naye mu kitiibwa.
Obulamu obw’Edda n’Obulamu Obuggya
5 (D)Noolwekyo temufugibwa bikolwa byammwe eby’omubiri, byonna mubitte. Gamba nga: obwenzi, n’obutali bulongoofu, n’obukaba, n’okwegomba okw’ensonyi, n’okuyaayaana; kye kimu n’okusinza bakatonda abalala. 6 (E)Kubanga obusungu bwa Katonda bubuubuukira ku baana ab’obujeemu abakola ebintu ebyo, 7 (F)ate nga nammwe edda mwe mwatambuliranga, bwe mwabikolanga. 8 (G)Naye kaakano mweyambulemu ebintu ebyo byonna; obusungu, n’ekiruyi, n’ettima, n’okuvvoola, n’okunyumya emboozi ey’ensonyi. 9 (H)Temulimbagananga kubanga mweyambulako omuntu ow’edda n’ebikolwa bye, 10 (I)ne mwambazibwa omuntu omuggya, nga mufuulibwa abaggya mu kifaananyi ky’oyo eyamutonda, ate ne mu kweyongera okumutegeera. 11 Olwo tewaba kwawulamu, Muyonaani na Muyudaaya, eyakomolebwa n’ataakomolebwa, Omunnaggwanga, n’Omusukusi, omuddu n’ow’eddembe, wabula Kristo ye byonna, era abeera mu ffe ffenna.
12 Ng’abalonde ba Katonda abatukuvu era abaagalwa, mwambalenga omwoyo ogusaasira, n’ekisa, n’obuwombeefu, n’obuteefu, n’obugumiikiriza. 13 (J)Bwe wabangawo omuntu yenna alina ensonga ku munne, muzibiikirizaganenga, era musonyiwaganenga. Nga Mukama waffe bwe yabasonyiwa era nammwe musonyiwaganenga. 14 (K)Okwagala kwe kusinga ebintu ebirala byonna, kubanga kwe kunyweza ebintu byonna.
15 (L)N’emirembe gya Kristo gifugenga emitima gyammwe, kubanga emirembe egyo gye mwayitirwa mu mubiri ogumu; era mwebazenga.
Amateeka g’omu Nnyumba z’Abakristaayo
16 (M)Ekigambo kya Kristo mu bugagga bwakyo kibeerenga mu mmwe, mu magezi gonna nga muyigirizagananga era nga mubuuliragananga mwekka na mwekka mu Zabbuli, ne mu nnyimba, ne mu biyiiye eby’omwoyo nga muyimbira Katonda nga mujjudde ekisa mu mitima gyammwe. 17 (N)Na buli kye munaakolanga mu kigambo oba mu kikolwa, byonna mubikolenga mu linnya lya Mukama waffe Yesu nga muyita mu ye okwebaza Katonda Kitaffe.
18 (O)Abakazi, muwulirenga babbammwe kubanga ekyo kye kituufu mu Mukama waffe.
19 Nammwe abaami mwagalenga bakyala bammwe era mubakwasenga kisa so si bukambwe.
20 Abaana, muwulirenga bazadde bammwe mu bintu byonna kubanga ekyo ky’ekisanyusa Katonda.
21 Nammwe bakitaabwe temunyiizanga baana bammwe baleme okuddirira mu mwoyo.
22 Abaddu, muwulirenga bakama bammwe ab’omu nsi mu bintu byonna, si kubasanyusa lwa kubanga babalaba, naye mubagonderenga n’omutima ogutaliimu bukuusa, nga mutya Mukama waffe. 23 Buli kye mukola mukikole ng’abakolera Mukama waffe so si abantu, 24 (P)nga mumanyi nga mulifuna empeera yammwe ey’omugabo gwammwe okuva eri Mukama waffe. Muweerezenga Mukama Kristo; 25 (Q)kubanga ayonoona, alisasulwa olw’ebikolwa bye, so tewaliba kusosola mu bantu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.