2 Samwiri 2:3-4
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Dawudi n’atwala n’abasajja abaali naye, buli muntu n’amaka ge, ne basenga mu Kebbulooni ne mu byalo byakyo. 4 (B)Awo abantu ba Yuda ne bajja mu Kebbulooni, ne bafukirako eyo Dawudi amafuta okuba kabaka w’ennyumba ya Yuda.
Dawudi n’ategeezebwa nti abantu ab’e Yabesugireyaadi be baaziika Sawulo,
Read full chapter
1 Ebyomumirembe 10:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)mu kifo ky’okwebuuza ku Mukama. Mukama kyeyava atta Sawulo n’obwakabaka n’abuwa Dawudi mutabani wa Yese.
Read full chapter
1 Samwiri 16:1
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Samwiri Afuka Amafuta ku Dawudi
16 (A)Awo Mukama n’agamba Samwiri nti, “Olituusa ddi okunakuwala olwa Sawulo, ate nga nze sikyamubala kuba kabaka wa Isirayiri? Jjuza ejjembe lyo amafuta nkutume eri Yese Omubesirekemu kubanga nnonze omu ku batabani be okuba kabaka.”
Read full chapter
1 Ebyomumirembe 11:10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Abasajja Abazira aba Dawudi
10 (A)Bano be baali abasajja abalwanyi abazira aba Dawudi, abaamuwagiranga ennyo mu bwakabaka bwe, wamu ne Isirayiri yenna okumufuulira ddala kabaka ow’enkalakkalira ng’ekigambo kya Mukama kye yasuubiza Isirayiri bwe kyali;
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.