1 Samwiri 18:5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
5 Buli kintu Sawulo kye yatumanga Dawudi, Dawudi n’akituukirizanga bulungi nnyo, era Sawulo kyeyava amuwa ekifo ekyawaggulu mu magye. Ekyo ne kisanyusa abantu bonna, n’abakungu ba Sawulo.
Read full chapter
1 Samwiri 18:16
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
16 (A)Naye Isirayiri yenna ne Yuda ne baagala Dawudi, kubanga yakulemberanga bulungi.
Read full chapter
Zabbuli 78:71
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
71 (A)Ave mu kuliisa endiga,
naye alundenga Yakobo, be bantu be,
era alabirirenga Isirayiri omugabo gwe, gwe yeerondera.
Matayo 2:6
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)“ ‘Naawe Besirekemu ekya Yuda,
toli mutono mu balangira ba Yuda,
kubanga omufuzi aliva mu ggwe,
alifuga abantu bange Isirayiri.’ ”
1 Ebyomumirembe 5:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Yuda yali w’amaanyi okusinga baganda be, era mu ye mwe mwava kabaka ow’eggwanga lya Isirayiri, wabula ebyobusika eby’obuggulanda byali bya mutabani wa Yusufu omukulu.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.