1 Ebyomumirembe 3:19
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
19 (A)Batabani ba Pedaya baali
Zerubbaberi ne Simeeyi.
Batabani ba Zerubbaberi baali
Mesullamu ne Kananiya,
ne Seronisi nga ye mwannyinaabwe.
Kaggayi 1:14
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
14 (A)Awo Mukama n’akubiriza omutima gwa Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda, n’omutima gwa Yoswa mutabani wa Yekozadaaki, kabona asinga obukulu, n’emitima egy’abantu bonna abaasigalawo, ne bajja ne batandika omulimu ku nnyumba ya Mukama ow’Eggye, Katonda waabwe,
Read full chapter
Kaggayi 2:21
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
21 (A)“Tegeeza Zerubbaberi gavana wa Yuda nti ndikankanya eggulu n’ensi.
Read full chapter
Zekkaliya 4:6-10
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
6 (A)Awo n’addamu n’aŋŋamba nti, “Kino kye kigambo kya Mukama eri Zerubbaberi: ‘Si lwa maanyi so si lwa buyinza naye lwa Mwoyo wange,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye.
7 (B)“Ggwe olusozi olunene weyita ki? Mu maaso ga Zerubbaberi olibeera lusenyi, era alireeta ejjinja erya waggulu mu mizira n’okwogerera mu ddoboozi ery’omwanguka ng’agamba nti, ‘Liweebwe omukisa, liweebwe omukisa!’ ”
8 Awo ekigambo kya Mukama ne kinzijira nga kyogera nti, 9 (C)“Emikono gya Zerubbaberi gitaddewo omusingi gwa yeekaalu eno era girigumaliriza, era olitegeera nti Mukama ow’Eggye ye yantuma gye muli.
10 (D)“Ani anyooma olunaku olw’ebintu ebitono? Abantu balijaguza, bwe baliraba ejjinja erigera mu mukono gwa Zerubbaberi. Gano omusanvu ge maaso ga Katonda agayitaayita mu nsi yonna.”
Read full chapter
Ezera 2:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Abaabakulembera baali Zerubbaberi, ne Yesuwa, ne Nekkemiya[a], ne Seraya, ne Leeraya, ne Moluddekaayi, ne Birusani, ne Misupaali, ne Biguvaayi, ne Lekumu, ne Baana.
Omuwendo gw’abantu ba Isirayiri gwali:
Footnotes
- 2:2 Nekkemiya ono, si ye oli eyawandiika ekitabo kya Nekkemiya.
Ezera 3:2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 (A)Awo Yesuwa mutabani wa Yozadaki ne bakabona banne, ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri n’ab’ennyumba ye ne batandika okuzimba ekyoto kya Katonda wa Isirayiri, okuweerangako ebiweebwayo ebyokebwa nga bwe kyawandiikibwa, mu Mateeka ga Musa omusajja wa Katonda.
Read full chapter
Ezera 5:8
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
8 (A)Kitugwanidde okumanyisa kabaka nga bwe twagenze mu ssaza lya Yuda ku yeekaalu ya Katonda omukulu. Abantu bagizimba n’amayinja amanene era bateeka n’embaawo mu bbugwe, era n’omulimu gukolebwa n’obunyiikivu n’okugenda gugenda mu maaso olw’okufuba kwabwe.
Read full chapter
Kaggayi 2:2-5
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
2 “Yogera ne Zerubbaberi mutabani wa Seyalutyeri, ow’essaza lya Yuda ne Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu, n’abantu abaasigalawo, obabuuze nti, 3 (A)‘Ani mu mmwe akyasigaddewo eyalaba ku kitiibwa ky’ennyumba eno? Ebafaananira etya kaakano? Tebafaananira ng’eteriimu kaabuntu? 4 (B)Kale nno guma omwoyo, ggwe Zerubbaberi, bw’ayogera Mukama; guma omwoyo, ggwe Yoswa mutabani wa Yekozadaaki kabona asinga obukulu; mugume omwoyo mmwe mwenna abantu ab’omu nsi,’ bw’ayogera Mukama, ‘Mukole, kubanga ndi wamu nammwe,’ bw’ayogera Mukama ow’Eggye. 5 (C)‘Kino kye nalagaana nammwe bwe mwali muva mu Misiri, ng’Omwoyo wange anaabeeranga nammwe. Temutya.’
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.