1 Ebyomumirembe 26
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Ebibinja eby’abaggazi
26 (A)Ebibinja by’abaggazi byali:
Mu Bakola,
waaliyo Meseremiya mutabani wa Kole, omu ku batabani ba Asafu. 2 (B)Meseremiya yalina abaana aboobulenzi nga
Zekkaliya ye w’olubereberye,
ne Yediyayeri nga wakubiri,
ne Zebadiya nga wakusatu,
ne Yasuniyeri nga wakuna,
3 ne Eramu nga wakutaano,
ne Yekokanani nga wamukaaga,
ne Eriwenayi nga wa musanvu.
4 Obededomu naye yalina abaana aboobulenzi nga
Semaaya ye w’olubereberye,
ne Yekozabadi nga wakubiri,
ne Yowa nga wakusatu,
ne Sakali nga wakuna,
ne Nesaneeri nga wakutaano,
5 (C)ne Ammiyeri nga wamukaaga,
ne Isakaali nga wa musanvu,
Pewulesayi nga wa munaana,
Katonda gwe yawa omukisa.
6 Mutabani we Semaaya naye yalina abaana aboobulenzi, abaali abakulembeze mu nnyumba ya kitaabwe kubanga baali basajja bazira. 7 Batabani ba Semaaya baali Osuni, ne Lefayeri, ne Obedi ne Eruzabadi, ne baganda baabwe abaayitibwanga Eriku ne Semakiya nabo baali basajja bakozi.
8 Abo bonna baali bazzukulu ba Obededomu, era bonna awamu ne batabani baabwe n’ab’eŋŋanda zaabwe abalala baali basajja bajjumbize, ate nga bakozi ab’amaanyi olw’omulimu ogwo. Bonna awamu baali nkaaga mu babiri.
9 Meseremiya naye yalina abaana aboobulenzi, n’ab’eŋŋanda ze bonna awamu abasajja abakozi, kkumi na munaana.
10 (D)Kosa, omu ku bazzukulu ba Merali yalina abaana aboobulenzi nga Simuli ye mukulu, newaakubadde nga si ye yali omubereberye kitaawe yali amufudde omukulu;
11 Kirukiya nga wakubiri, ne Tebaliya nga wakusatu,
ne Zekkaliya nga wakuna.
Batabani ba Kosa n’ab’eŋŋanda be bonna awamu baali kkumi na basatu.
12 (E)Ebibinja bino eby’abagazi, omwali abakulu b’ebyalo, baalina obuvunaanyizibwa okuweereza mu yeekaalu ya Mukama, ng’Abaleevi abalala bonna. 13 (F)Ne bakubira obululu, buli nnyumba, abato n’abakulu, ng’emiryango bwe gyali.
14 (G)Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebuvanjuba ne kagwa ku Seremiya.
Ate akalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikakkono, ne kagwa ku Zekkaliya mutabani we, era omuteesa ow’amagezi.
15 (H)Akalulu ak’Omulyango ogw’Obukiikaddyo kagwa ku Obededomu, ate ak’eggwanika ne kagwa ku batabani be.
16 Akalulu ak’Omulyango ogw’Ebugwanjuba n’Omulyango Salekesi awaali olutindo okwambuka, ne kagwa ku Suppima ne Kosa.
Abakuumi baali boolekera bakuumi bannaabwe.
17 Ku luuyi olw’ebuvanjuba waaliyo Abaleevi mukaaga, olunaku,
ne ku luuyi olw’obukiikakkono waaliyo bana olunaku
ne ku luuyi olw’obukiikaddyo waaliyo bana olunaku,
ne ku ggwanika babiri babiri.
18 Ku luuyi olw’ebugwanjuba olw’oluggya waaliyo bana, ne mu Luggya lwennyini waaliyo babiri.
19 (I)Eyo ye yali engabanya ey’abagazi abaali bazzukulu ba Kola ne Merali.
Abawanika n’Abakungu Abalala
20 (J)Ku Baleevi, Akiya ye yali omukulu w’amawanika g’ennyumba ya Katonda, era n’amawanika g’ebintu ebyawongebwa. 21 (K)Bazzukulu ba Ladani, abaali bazzukulu b’Abagerusoni mu Ladani, abaali abakulu b’ennyumba za bakitaabwe nga be ba Yekyeri, 22 (L)batabani ba Yekyeri, ne Zesamu, ne Yoweeri muganda we, be baavunaanyizibwanga amawanika ga yeekaalu ya Mukama.
23 (M)Ku Bamulaamu, ne ku Bayizukaali, ne ku Bakebbulooni, ne ku Bawuziyeeri:
24 (N)Sebweri muzzukulu wa Gerusomu, mutabani wa Musa, ye yali omuwanika omukulu. 25 (O)Baganda be okuva ku Eryeza nga be ba Lekabiya, ne Yesaya, ne Yolaamu, ne Zikuli ne Seromosi, bonna nga batabani be.
26 (P)Seromosi ne baganda be, be baali abawanika b’ebintu byonna ebyawongebwa Dawudi kabaka, n’abakulu b’ennyumba, n’abaali abaduumizi b’olukumi, n’abaduumizi b’ekikumi, n’abaduumizi abalala. 27 Ebimu ku byanyagibwa mu ntalo babiwonga, ne babiwaayo okuddaabiriza yeekaalu ya Mukama. 28 (Q)Ne byonna ebyawongebwa Samwiri nnabbi, ne Sawulo mutabani wa Kiisi, ne Abuneeri mutabani wa Neeri, ne Yowaabu mutabani wa Zeruyiya byavunaanyizibwanga Seromisi n’ab’eŋŋanda ze.
29 (R)Ku Bayizukaali,
Kenaniya ne batabani be baaweebwa obuvunaanyizibwa ebweru wa yeekaalu, okuba abakungu era abalamuzi okufuganga Isirayiri.
30 (S)Ku Bakebbulooni,
Kasabiya n’ab’eŋŋanda ze abasajja abazira, lukumi mu lusanvu, baavunaanyizibwanga omulimu gwonna gwa Mukama, n’okuweereza kabaka, ku luuyi olw’ebugwanjuba emitala wa Yoludaani mu Isirayiri. 31 (T)Mu Bakebbulooni, Yeriya ye yali omukulu, okusinziira ku byafaayo eby’okuzaalibwa okw’ennyumba zaabwe.
Mu mwaka ogw’amakumi ana Dawudi nga ye kabaka, ne waba okunoonyereza mu byafaayo, era ne mulabika mu Yazeri eky’e Gireyaadi abasajja abazira ng’Abakebbulooni. 32 Yeriya yalina abasajja abazira era nga mitwe gy’ennyumba zaabwe, enkumi bbiri mu lusanvu, era kabaka Dawudi n’amufuula mulabirizi wa Balewubeeni, n’Abagaadi, n’ekitundu ky’ekika eky’Abamanase, olwa buli kigambo kya Katonda, n’olw’ebigambo bya kabaka.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.