1 Ebyomumirembe 24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Ebibinja eby’abazzukulu ba Alooni nga bwe bagabanyizibwamu byali bwe biti:
Batabani ba Alooni baali Nadabu, ne Abiku, ne Eriyazaali ne Isamaali. 2 (B)Naye Nadabu ne Abiku baasooka kitaabwe okufa, ate nga baafa tebazzadde baana. Eriyazaali ne Isamaali kyebaava baawulibwa era ne batandika okukola omulimu ogw’obwakabona. 3 (C)Dawudi ng’ayambibwako Zadooki muzzukulu wa Eriyazaali, ne Akimereki muzzukulu wa Isamaali, yabaawulamu ebibinja nga bwe baalondebwa mu kuweereza kwabwe. 4 Kyazuulibwa nga abakulembeze mu bazzukulu ba Eriyazaali baali bangi okusinga abazzukulu ba Isamaali, bwe bati bwe bagabanyizibwamu: mu bazzukulu ba kkumi na mukaaga, okuba abakulu b’ennyumba ne ku bazzukulu ba Isamaali munaana okuba abakulu b’ennyumba. 5 (D)Baabagabanyamu nga bakubye obululu, kubanga waaliwo abakungu abamu nga ba mu kifo ekitukuvu, n’abalala nga bakungu ba Katonda naye nga bonna bazzukulu ba Eriyazaali ne Isamaali.
6 (E)Semaaya Omuwandiisi, mutabani wa Nesaneri, Omuleevi, n’awandiikira amannya gaabwe mu maaso ga kabaka n’abakungu nga Zadooki kabona, ne Akimereki mutabani wa Abiyasaali, n’abakulu b’ennyumba za bakabona, n’Abaleevi, ennyumba emu ng’eronderwa Eriyazaali, n’endala ng’eronderwa Isamaali.
7 (F)Akalulu akaasooka kaagwa ku Yekoyalibu,
n’akokubiri ku Yedaya,
8 (G)n’akokusatu ku Kalimu,
n’akokuna ku Seyolimu,
9 n’akookutaano ku Malukiya,
n’ak’omukaaga ku Miyamini,
10 (H)n’ak’omusanvu ku Kakkozi,
n’ak’omunaana ku Abiya,
11 n’ak’omwenda ku Yesuwa,
n’ak’ekkumi ku Sekaniya,
12 n’ak’ekkumi n’akamu ku Eriyasibu,
n’ak’ekkumi noobubiri ku Yakimu,
13 n’ak’ekkumi noobusatu ku Kuppa,
n’ak’ekkumi noobuna ku Yesebeyabu,
14 (I)ak’ekkumi noobutaano ku Biruga,
n’ak’ekkumi n’omukaaga ku Immeri,
15 (J)n’ak’ekkumi n’omusanvu ku Keziri,
n’ak’ekkumi n’omunaana ku Kapizzezi,
16 n’ak’ekkumi n’omwenda ku Pesakiya,
n’ak’amakumi abiri ku Yekezukeri,
17 ak’amakumi abiri mu kamu ku Yakini,
n’ak’amakumi abiri mu bubiri ku Gamuli,
18 n’ak’amakumi abiri mu busatu ku Deraya,
n’ak’amakumi abiri mu buna ku Maaziya.
19 Kuno kwe kwali okulondebwa kw’obuweereza bwabwe, bwe baayingiranga mu yeekaalu ya Mukama, nga bagoberera ebiragiro ebyabaweebwa jjajjaabwe Alooni, nga Mukama Katonda wa Isirayiri bwe yamulagira.
Abaleevi Abalala
20 (K)Bazzukulu ba Leevi abalala baali:
okuva mu batabani ba Amulaamu, yali Subayeri;
okuva mu batabani ba Subayeri yali Yedeya.
21 (L)Ku ba Lekabiya, Issiya ye yali omuggulanda.
22 Ku Bayizukaali Seromosi,
ate ku batabani ba Seromosi yali Yakasi.
23 (M)Ku batabani ba Kebbulooni,
Yeriya ye yali omukulu, Amaliya nga ye wookubiri, Yakaziyeri nga ye wookusatu, ne Yekameyamu nga ye wookuna.
24 Mutabani wa Winziyeeri, ye yali Mikka;
ne ku batabani ba Mikka, ne Samiri.
25 Muganda wa Mikka ye yali Issiya,
ne ku batabani ba Issiya, Zekkaliya.
26 (N)Batabani ba Merali baali Makuli ne Musi.
Mutabani wa Yaaziya ye yali Beno.
27 Batabani ba Merali,
mu Yaaziya: Beno, ne Sokamu, ne Zakkuli, ne Ibuli.
28 Okuva ku Makuli, Eriyazaali, ataazaala baana babulenzi.
29 Okuva ku Kiisi, yali mutabani we Yerameeri.
30 Ne ku batabani ba Musi, Makuli, ne Ederi ne Yerimosi.
Abo be baali Abaleevi, ng’ennyumba zaabwe bwe zaali.
31 (O)Era ne bano bwe batyo ne bakuba obululu, nga baganda baabwe bazzukulu ba Alooni bwe baakola, mu maaso ga Kabaka Dawudi, ne Zadooki, ne Akimereki, n’abakulu b’ennyumba za bakabona n’Abaleevi. Ennyumba ya muganda waabwe omukulu yayisibwanga mu ngeri y’emu ng’ey’omuto.
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.