1 Ebyomumirembe 23:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)Abo be baali abazzukulu ba Leevi mu bika byabwe, ng’emitwe gy’ennyumba bwe gyali giwandiikibbwa mu mannya gaabwe, era nga bwe baabalibwa buli kinoomu, be bakozi abaalina emyaka amakumi abiri n’okusingawo abaaweerezanga mu yeekaalu ya Mukama.
Okubala 8:24
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
24 (A)“Bino bye bikwata ku Baleevi: Abasajja ab’emyaka amakumi abiri mu etaano egy’obukulu n’okusingawo, banajjanga ne batandika emirimu gyabwe mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu;
Read full chapter
Okubala 4:3-49
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
3 (A)Mubabale nga muva ku basajja ab’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano, abayinza okuyingira mu buweereza obw’okukola emirimu mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
4 (B)“Gino gye mirimu eginaakolwanga batabani ba Kokasi: nga gya kulabirira ebintu ebitukuvu ennyo. 5 (C)Olusiisira bwe lunaabanga lusitula, Alooni ne batabani be banaayingiranga mu Weema ya Mukama, ne batimbulula eggigi ery’olutimbe ne balibikka ku Ssanduuko ey’Endagaano. 6 (D)Okwo banaabikkangako amaliba ga lukwata, kuno ne babikkako olugoye olwa bbululu omuka, ne balyoka basonsekamu emisituliro gyayo.
7 (E)“Ku mmeeza ey’Emigaati egy’Okulaga banaayaliirangako ekitambala ekya bbululu, ne bassaako amasowaane, n’ebijiiko ebinene, n’amabakuli, n’ejaagi omunaabeeranga ebiweebwayo ebyokunywa; n’emigaati egy’okulaga nagyo ginaabeeranga okwo. 8 Banaayaliirangako ekitambaala ekimyufu ennyo, ne bakibikkako amaliba ga lukwata; ne basonsekamu emisituliro gyayo.
9 (F)“Banaddiranga ekitambaala ekya bbululu ne bakibikka ku kikondo ky’ettaala kwe zinaayakiranga, n’ettabaaza zaako, n’ebikomola entambi n’ensuniya ez’ebisirinza, n’ejaagi ez’amafuta ag’omuzeeyituuni aganaakozesebwanga mu ttaala ezo. 10 Ekikondo n’ebigenderako byonna binaasibibwanga mu maliba ga lukwata ne biteekebwa ku musituliro.
11 (G)“Banaayaliiranga olugoye olwa bbululu ku kyoto ekya zaabu, okwo ne babikkako amaliba ga lukwata, ne basonsekamu emisituliro gyakyo.
12 “Banaddiranga ebintu byonna ebinaakozesebwanga ku mirimu gy’obuweereza mu watukuvu ne babiteeka mu lugoye olwa bbululu ne babibikkako amaliba ga lukwata, ne babiteeka ku misituliro gyabyo. 13 (H)Ekyoto banaakiggyangamu evvu ne bakibikkako olugoye olwa ffulungu; 14 (I)ne balyoka bakissaako ebintu byonna ebikozesebwa mu mirimu gy’oku kyoto, nga mwe muli ensiniya ez’omuliro, n’ewuuma, n’ebijiiko n’ebibya. Okwo banaabikkangako amaliba ga lukwata, ne balyoka basonsekamu emisituliro gyakyo.
15 (J)“Alooni ne batabani be bwe banaamalanga okusibako awatukuvu ne byonna ebibeeramu, nga n’ekiseera ky’olusiisira okusitula mu lugendo kituuse; awo batabani ba Kokasi banajjanga ne babisitula, naye ekintu kyonna ekitukuvu tebakikwatangako, baleme okufa. Ebyo bye bintu eby’omu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu batabani ba Kokasi bye baneetikkanga.
16 (K)“Eriyazaali, mutabani wa Alooni kabona, y’anaabeeranga n’obuvunaanyizibwa obw’amafuta g’ettaala ag’omuzeeyituuni, n’obubaane obwakaloosa, n’ekiweebwayo eky’okulaga eky’emmere ey’empeke, n’amafuta ag’omuzeeyituuni ag’okwawula. Era y’anaalabiriranga Eweema ya Mukama ne byonna ebigirimu, n’awatukuvu ne byonna ebikozesezebwamu.”
17 Mukama Katonda n’agamba Musa ne Alooni nti, 18 “Mwegendereze ab’omu mpya z’ennyumba z’Abakokasi baleme okukutulwa ku kika ky’Abaleevi. 19 (L)Ekyo munaakibakoleranga, bwe batyo bwe banaasembereranga ebintu ebitukuvu ennyo balemenga okufa, naye basigalenga nga balamu. Alooni ne batabani be banaayingiranga mu watukuvu ne bagabira buli Mukokasi omulimu gwe n’ebyo by’aneetikkanga. 20 (M)Naye Abakokasi tebaayingirenga munda kutunula ku bintu ebitukuvu, wadde n’eddakiika emu, balemenga okufa.”
Batabani ba Gerusoni
21 Mukama Katonda n’agamba Musa nti, 22 “Bala ne batabani ba Gerusoni ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe ziri. 23 (N)Babale ng’otandikira ku basajja ab’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano, abayinza okuyingira mu buweereza obw’okukola emirimu egya Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu.
24 “Gino gye mirimu eginaakolebwanga ab’omu mpya z’Abagerusoni mu kuweereza era ne mu kwetikka emigugu: 25 (O)Baneetikkanga entimbe ez’omu Weema ya Mukama, y’Eweema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu n’ebigibikkako, n’amaliba aga lukwata agabikkibwa kungulu kwayo, n’entimbe ez’omu mulyango gwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, 26 n’entimbe ez’omu luggya olwebungulula Weema ya Mukama n’ekyoto, n’olutimbe lw’omulyango gw’oluggya, n’emiguwa, ne byonna ebinaakozesebwanga mu kuweereza okwo. Abagerusoni banaakolanga byonna ebineetaagibwanga okukola ku bintu ebyo. 27 Mu kuweereza kwonna okw’Abagerusoni, oba mu kwetikka oba mu kukola emirimu egy’engeri endala, Alooni ne batabani be, be banaabalagiranga. Abagerusoni ojjanga kubakwasa obuvunaanyizibwa bwonna ku ebyo bye baneetikkanga. 28 (P)Obwo bwe buweereza bwa batabani ba Gerusoni nga bukwata ku Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Bye banaakolanga binaalabirirwanga Isamaali mutabani wa Alooni kabona.
Batabani ba Merali
29 (Q)“Batabani ba Merali nabo babale ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe ziri. 30 Babale ng’otandikira ku basajja ab’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano, abayinza okuyingira mu buweereza obw’okukola emirimu egya Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. 31 (R)Gino gye ginaabanga emirimu gyabwe egikwata ku Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu: Okusitula omudaala gwa Weema ya Mukama, n’embaawo zaayo, n’empagi n’ebibya mwe zituula, 32 awamu n’empagi ezeebungulula oluggya n’ebibya byazo mwe zituula, n’enkondo z’eweema, n’emiguwa, ne byonna ebyetaagibwa okukozesebwa ku mirimu egyo. Buli musajja onoomutegeezanga amannya g’ebintu byennyini by’ajjanga okwetikka. 33 Egyo gye ginaabanga emirimu gy’omu mpya z’abaana ba Merali nga bali mu buweereza bwabwe obwa Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, nga bakulemberwa Isamaali mutabani wa Alooni kabona.”
Ebyava mu Kubala Abantu
34 (S)Awo Musa ne Alooni n’abakulembeze b’abantu ne babala batabani b’Abakokasi ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali.
35 Ne bababala nga batandikira ku basajja ab’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku myaka amakumi ataano, abajja okuweereza mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, 36 nga bababala ng’empya zaabwe bwe zaali; baawera enkumi bbiri mu lusanvu mu amakumi ataano (2,750). 37 (T)Ogwo gwe gwali omuwendo gwonna ogw’abo abaali mu mpya z’Abakokasi abaaweerezanga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Musa ne Alooni baababala nga Mukama bwe yalagira Musa.
38 (U)Batabani ba Gerusoni nabo baabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali.
39 Abasajja bonna okuva ku b’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano abaaweerezanga mu mirimu egy’omu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, 40 baabalibwa ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali, ne bawera enkumi bbiri mu lukaaga mu amakumi asatu (2,630). 41 Ogwo gwe gwali omuwendo gwonna ogwa batabani ba Gerusoni abaali mu mpya za Abagerusoni abaaweerezanga mu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu. Musa ne Alooni baababala nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
42 Batabani ba Merali baabalibwa ng’empya zaabwe n’ennyumba z’abakadde baabwe bwe zaali. 43 Abasajja bonna okuva ku b’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano abajja okuweereza mu mirimu gy’omu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, 44 abaabalibwa ng’empya zaabwe bwe zaali baali bawera enkumi ssatu mu ebikumi bibiri (3,200). 45 (V)Ogwo gwe gwali omuwendo gwonna ogwabalibwa ogw’omu mpya za batabani ba Merali. Musa ne Alooni baababala nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
46 Bwe batyo Musa ne Alooni n’abakulembeze ba Isirayiri ne babala Abaleevi bonna mu mpya zaabwe ne mu nnyumba z’abakadde baabwe. 47 (W)Abasajja bonna okuva ku b’emyaka amakumi asatu egy’obukulu okutuuka ku b’emyaka amakumi ataano abajja okuweereza mu mirimu egy’omu Weema ya Mukama ey’Okukuŋŋaanirangamu, 48 (X)abaabalibwa baawera kanaana mu ebikumi bitaano mu kinaana (8,580). 49 (Y)Buli musajja yaweebwa omulimu ogw’okukola n’ategeezebwa ky’aneetikka, nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Bwe batyo bonna ne babalibwa nga Mukama Katonda bwe yalagira Musa.
Read full chapterBayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.