Makko 2
Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya
Yesu Awonya Omulwadde w’Olukonvuba
2 Awo bwe waayitawo ennaku nnyingi Yesu n’akomawo mu kibuga Kaperunawumu, ne kiwulirwa nti ali ka. 2 (A)Abantu bangi ne bakuŋŋaana, ne wataba kafo wayinzika kuyisibwa kigere ku mulyango; n’ababuulira Enjiri. 3 (B)Omulwadde eyali akoozimbye ne bamuleeta eri Yesu ng’asituliddwa abasajja bana. 4 Naye bwe balemwa okuyingiza omulwadde eyali akoozimbye olw’ekibiina ekinene ne baseluukulula ku kasolya ne bassa omulwadde ng’ali ku katanda ke. 5 (C)Yesu bwe yalaba okukkiriza kwabwe, n’agamba omulwadde eyali akoozimbye nti, “Mwana wange ebibi byo bikusonyiyiddwa.” 6 Naye abamu ku bannyonnyozi b’amateeka abaali batudde awo nga balowooza ku bintu bino mu mitima gyabwe ne boogera nti, 7 (D)“Ono ayinza atya okwogera bw’atyo? Avvodde! Ani ayinza okusonyiwa ebibi okuggyako Katonda?” 8 Amangwago Yesu n’amanya mu mutima gwe bye baali boogerako bokka ne bokka n’ababuuza nti, “Lwaki mwebuuzaganya ebintu bino mu mitima gyammwe? 9 Ekyangu kye kiruwa, okugamba akoozimbye nti ebibi byo bikusonyiyiddwa oba nti yimirira ositule akatanda ko otambule? 10 (E)Naye mmwe okusobola okutegeera ng’Omwana w’Omuntu alina obuyinza okusonyiwa ebibi ku nsi;” n’agamba eyali akoozimbye nti, 11 “Yimirira ositule akatanda ko oddeyo ewuwo.” 12 (F)Awo omusajja n’asituka, amangwago n’asitula akatanda ke n’afuluma nga bonna balaba. Bonna ne bawuniikirira era ne bagulumiza Katonda, nga bagamba nti, “Kino tetukirabangako.”
Yesu Ayita Leevi
13 (G)Awo Yesu n’addayo nate ku lubalama lw’ennyanja ekibiina ky’abantu ne bajja gy’ali, n’abayigiriza. 14 (H)Awo bwe yali ng’atambula n’alaba Leevi mutabani wa Alufaayo ng’atudde we yasoloolezanga omusolo, n’amugamba nti, “Ngoberera.” Awo Leevi n’asituka n’amugoberera. 15 Awo Yesu bwe yali mu nnyumba ya Leevi nga bali ku mmere, ng’ali wamu n’abawooza, n’abalina ebibi, n’abayigirizwa be, ng’abantu bangi bamugoberedde, 16 (I)abannyonnyozi b’amateeka n’Abafalisaayo ne baalaba Yesu ng’alya n’abalina ebibi n’abawooza, ne bagamba abayigirizwa be nti, “Lwaki alya n’abawooza n’abalina ebibi?” 17 (J)Yesu bwe yakiwulira n’abagamba nti, “Abalamu tebeetaaga musawo, wabula abalwadde! Sajja kuyita batuukirivu wabula abalina ebibi.”
Yesu Bamubuuza ku by’Okusiiba
18 (K)Abayigirizwa ba Yokaana n’ab’Abafalisaayo baali basiiba. Abantu ne bajja eri Yesu ne bamubuuza nti, “Lwaki abayigirizwa ba Yokaana n’abayigirizwa b’Abafalisaayo basiiba, naye abayigirizwa bo ne batasiiba?” 19 Awo Yesu n’abaddamu nti, “Ddala ddala abali n’awasiza omugole bayinza batya okusiiba, ng’awasizza omugole ali nabo? 20 (L)Naye ekiseera kirituuka awasizza omugole bw’alibaggibwako; okuva olwo ne balyoka basiiba. 21 Teri muntu atunga kiwero kiggya mu lugoye olukadde kubanga ekiwero ekiggya kiyuza olugoye olukadde, n’ekituli ne kyeyongera okugaziwa. 22 Teri muntu ateeka mwenge musu mu nsawo z’amaliba nkadde kubanga omwenge omusu gwabya ensawo enkadde, omwenge ne guyiika, n’ensawo ne ziyulika. Naye omwenge omusu baguteeka mu nsawo mpya.”
Yesu ye Mukama wa Ssabbiiti
23 (M)Awo mu biro ebyo Yesu yali ayita mu nnimiro y’emmere ey’empeke ku Ssabbiiti, abayigirizwa be ne batandika okunoga ku birimba by’emmere ey’empeke. 24 (N)Abafalisaayo ne bagamba Yesu nti, “Lwaki abayigirizwa bo bakola ekitakkirizibwa ku Ssabbiiti.” 25 Yesu n’abaddamu nti, “Temusomanga ku Dawudi kye yakola bwe yalina okwetaaga n’enjala ng’emuluma, ye ne be yali nabo, 26 (O)bwe yayingira mu nnyumba ya Katonda mu biro bya Abiyasaali kabona omukulu, n’alya emigaati egy’okulaga n’awaako n’abo be yali nabo, egitakkirizibwa kuliibwako bantu balala okuggyako bakabona.” 27 (P)N’abagamba nti, “Ssabbiiti yateekebwawo lwa muntu, so si omuntu ku lwa Ssabbiiti. 28 (Q)Noolwekyo Omwana w’Omuntu ye Mukama wa Ssabbiiti.”
马可福音 2
Chinese Contemporary Bible (Simplified)
治好瘫子
2 几天后,耶稣回到迦百农。祂在家的消息一传开, 2 立刻有许多人蜂拥而来,连门外也挤满了人。耶稣正给他们讲道的时候, 3 有四个人抬着一个瘫痪的人来见祂。 4 但因为人太多,他们无法抬到耶稣跟前,就拆掉屋顶,对准耶稣所坐的地方,将瘫子连垫子一起缒下去。 5 耶稣看见他们的信心,就对瘫子说:“孩子,你的罪被赦免了!” 6 有几个律法教师坐在那里,心里议论说: 7 “这是什么话?简直是亵渎上帝!除了上帝之外,谁能赦罪呢?”
8 耶稣立刻看透了他们的心思,就说:“你们为什么这样心里议论呢? 9 对瘫子说‘你的罪得到赦免了’容易呢,还是说‘起来,收拾你的垫子走吧’容易呢? 10 但我要让你们知道人子在世上有赦罪的权柄。”于是祂对瘫子说: 11 “我吩咐你起来收拾你的垫子回家去吧。” 12 那人就站起来,马上收拾好垫子,当着众人的面走了出去。众人都十分惊奇,赞美上帝说:“我们从来没见过这样的事!”
呼召利未
13 耶稣又出去到了湖边。有一大群人围拢过来,祂就教导他们。 14 耶稣往前走的时候,看见亚勒腓的儿子利未坐在收税站里工作,就对他说:“跟从我!”利未就起来跟从了耶稣。
15 后来,利未请耶稣和祂的门徒到家里坐席,同席的还有很多已经跟随耶稣的税吏和罪人。 16 有几位法利赛人的律法教师看见耶稣跟税吏和罪人同席,就问耶稣的门徒:“祂怎么会跟这些税吏和罪人一起吃饭呢?”
17 耶稣听见了,就说:“健康的人不需要医生,有病的人才需要。我来不是要召义人,乃是要召罪人。”
论禁食
18 约翰的门徒和法利赛人都在禁食的时候,有人来问耶稣:“约翰的门徒和法利赛人的门徒禁食,为什么你的门徒不禁食呢?”
19 耶稣对他们说:“新郎还在的时候,宾客怎能在婚宴中禁食呢?新郎还跟他们在一起的时候,他们不该禁食。 20 但有一天新郎将被带走,那时他们就要禁食了。
21 “没有人会用新布来补旧衣服,因为新布会把旧衣服扯破,破洞会更大; 22 也没有人把新酒倒进旧皮囊里,否则新酒会胀破旧皮囊,酒和皮囊都毁了。所以,新酒一定要装在新皮囊里。”
安息日的主
23 一个安息日,耶稣和门徒走过一片麦田,门徒一边走一边搓麦穗吃。 24 法利赛人批评耶稣说:“看看你的门徒,他们为什么做安息日不准做的事?”
25 耶稣回答说:“大卫和他的部下在饥饿、缺粮时所做的事,你们没有读过吗? 26 在亚比亚他做大祭司时,他进入上帝的殿吃了献给上帝的供饼,还给他的部下吃。这饼只有祭司才可以吃。 27 安息日是为人设立的,人不是为安息日设立的。 28 所以,人子也是安息日的主。”
Bayibuli Entukuvu, Endagaano Enkadde nʼEndagaano Empya Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Tuweereddwa olukusa okuva mu Biblica, Inc.® Olukusa lwonna mu nsi yonna lusigalidde mu Biblica, Inc. Luganda Contemporary Bible Copyright © 1984, 1986, 1993, 2014 by Biblica, Inc.® Used by permission of Biblica, Inc.® All rights reserved worldwide.
Chinese Contemporary Bible Copyright © 1979, 2005, 2007, 2011 by Biblica® Used by permission. All rights reserved worldwide.